Return   Facebook   Zip File

Arabic

1

OWANGE GGWE OMWANA OW’OMWOYO!

Okubuulirira Kwange okusooka kwe kunno: Beeranga n’omutima omulongoofu, ogw’ekisa era omusanyufu, bwebutyo obubwo bubeere obwakabaka obw’eddanedda, obutayonooneka era obutazikkirira.

2

OWANGE GGWE OMWANA OW’OMWOYO!

Ekisingira ddala okwagalwa mu bintu byonna mu maaso gange Nze bwe Bwenkanya; tobuvangako oba nga onjagala Nze, era tobusuuliriranga bwentyo ndyoke nkwesigenga Nze. Singa olibukozesa olirabanga n’amaaso go gennyini so si n’amaaso ag’abalala; era olitegeeranga mu magezi go gennyini so si mu magezi ga muliraanwa wo. Kino kifumiitirizeeko nnyo mu mmeeme yo, nga bwe kikugwanira okubeera. Ddala ddala, Obwenkanya Kirabo kyange Nze eri ggwe era akabonero akekisa eky’okwagala Kwange Nze. Bwotyo tobuggyanga mu maaso go.

3

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Nga neekisizza Nze mu mbeera Yange etalimanyibwa era ne mu nnono Yange ey’eddanedda lyonna, nnamanya okwagala kwange Nze eri ggwe; noolwekyo nakutonda ggwe, ne nkulambako ekifaananyi kyange Nze era ne nkubikkulira obubalagavu Bwange .

4

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Nnayagala otondebwa kwo, bwentyo nnakutonda Nze. Noolwekyo ggwe onjagale Nze, ndyoke nkutuume erinnya lyo era nzijuze emmeeme yo n’omwoyo gw’obulamu.

5

OWANGE GGWE OMWANA W’OBULAMU!

Njagala Nze, nange ndyoke nkwagale ggwe. Singa tonjagala Nze, okwagala kwange tekulina ngeri yonna gye kuyinza kukutuukako. Kino kimanye, Owange ggwe omuddu.

6

OWANGE GGWE OMWANA W’OBULAMU!

Olusuku lwo Olutukuvu kwe kwagala kwange Nze; amaka ag’omu ggulu, kwe kuddamu okutabagana nange Nze. Yingira munda eyo era tolindirira. Kino kye kyakuterekerwa mu bwakabaka Bwaffe obwa waggulu ne mu ttwale Lyaffe erigulumizibwa.

7

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Singa onjagala Nze, weesammulire ddala okwerowoozaako; era singa onoonya essanyu lyange Nze, eriryo lisuule muguluka; bwotyo olyoke osobole okufiira mu Nze era Nange nsobole okubeera mu ggwe emirembe n’emirembe.

8

OWANGE GGWE OMWANA W’OMWOYO!

Teriba mirembe mu ggwe wabula nga weggiremu ddala okwerowoozaako era n’okunkyukira Nze; kubanga kikugwanidde okwenyumiriza mu linnya lyange Nze, so si mu liryo ggwe; okussa obwesige mu Nze so si mu bubwo ggwe, kubanga bwentyo Nze bwe njagala okwagalibwa obwannamunigina okusinga ebirala byonna.

9

OWANGE GGWE OMWANA W’OBULAMU! Okwagala kwange Nze ye bbugwe wange; oyo yenna ayingira munda taatuukibwengako kabi konna era anaakuumibwanga, naye oyo yenna anaamwesulubabbanga alibula era mu mazima alisaanawo.

10

OWANGE GGWE OMWANA W’EKIGAMBO!

Ggwe oli bbugwe wange Nze; yingira munda bwotyo olyoke okkalire awatali kabi konna. Okwagala kwange Nze kuli mu ggwe, kino kimanye, bwotyo olyoke ondabe Nze nga ndi kumpi naawe.

11

OWANGE GGWE OMWANA W’OBULAMU!

Ggwe oli ttabaaza yange Nze era n’ekitangaala Kyange kiri mu ggwe. Weefunire ggwe okwakaayakana kwo okuva ku yo, era oleme okunoonya omulala yenna okuggyako Nze. Kubanga nkutonze ggwe nga oli mugagga era ne nkubunduggulako omukisa gwange Nze.

12

OWANGE GGWE OMWANA W’OBULAMU!

N’emikono gyange Nze egy’obuyinza nkubumba ggwe era N’engalo ez’amaanyi nakutonda ggwe; era mu ggwe ntaddemu ennono y’ekitangaala kyange Nze. Ekitangaala kino kikumale era tonoonya kirala kyonna, kubanga omulimu gwange Nze gutuukirira n’eteeka lyange Nze liteekwa okussibwa mu nkola. Toliwakanyanga, wadde okulibuusabuusa.

13

OWANGE GGWE OMWANA W’OMWOYO!

Nakutonda ggwe nga oli mugagga, lwaki weefeebya ne weyavuwaza? Nakutonda ggwe nga oli wa kitiibwa, kale lwaki weefeebya? Okuva mu nnono y’amagezi nakuwa obulamu, lwaki ozunga nga onoonya okutangaazibwa okuva eri omulala yenna atali Nze? Okuva mu bbumba ery’okwagala, nakubumba Nze, kale osobola otya ate okwefulukuta n’omulala? Weekebere ggwe wennyini, bwotyo olyoke ondabe Nze nga nnyimiridde munda mu ggwe, n’amaanyi, obuyinza era nga nneemalirira.

14

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Ggwe oli bwakabaka bwange Nze era obwakabaka bwange Nze tebusaanawo, kale okusaanawo kwo okutyamu ki? Ggwe oli kitangaala kyange Nze, era ekitangaala Kyange tekirizikira; kale lwaki otya ggwe okusaanaawo? Ggwe oli kitiibwa kyange Nze era ekitiibwa Kyange tekisiiwuuka; ggwe oli kyambalo kyange Nze era ekyambalo Kyange tekirikaddiwa. Kale nno kkalira mu kwagala kwange Nze, bwotyo olyoke ondabe Nze mu bwakabaka obw’ekitiibwa.

15

OWANGE GGWE OMWANA W’EKIGAMBO!

Kyusa obwenyi bwo eri obwange Nze era wesammulire ddala ebirala byonna wabula Nze; kubanga obwakabaka Bwange bwa nkalakkalira era ettwale lyange Nze terisaanawo. Singa ggwe onoonya omulala yenna okusinga Nze, weewaawo, singa onoonyereza mu nsi yonna emirembe gyonna, okunoonyereza kwo kuligwa butaka.

16

OWANGE GGWE OMWANA W’EKITANGAALA!

Weerabire byonna okuggyako Nze era nnyumya n’omwoyo gwange Nze; eno ye nnono y'etteeka Lyange, noolwekyo ligobererenga.

17

OWANGE GGWE OMWANA W’ OMUNTU!

Beera mumativu mu Nze era tonoonyanga mubeezi mulala. Kubanga tewali mulala wabula Nze aliyinza okukumatiza.

18

OWANGE GGWE OMWANA W’OMWOYO!

Tonsabanga Nze ekyo kyetutakwagaliza ggwe, bwotyo ekyo kye tukutegekedde kikumalenga, kubanga kino kye kinaakugasa, singa mu kyo mw’owulirira emirembe.

19

OWANGE GGWE OMWANA W’OKWOLESEBWA OKW’EKITALO!

Nakufuuyeemu munda mu ggwe omukka ogw’omwoyo gwange Nze gwennyini, bwotyo osobole okubeera omuwagalwa Wange. Lwaki onjabulidde n’oganza omulala atali Nze?

20

OWANGE GGWE OMWANA W’OMWOYO!

Obwannannyini Bwange ku ggwe bunene, tebuyinza kwerabirwa. Ekisa Kyange eri ggwe kingi nnyo, tekiyinza kubikkibwa. Okwagala Kwange kukoze amaka mu ggwe, tekuyinza kukwekebwa. Ekitangaala Kyange kyoleseddwa mu ggwe tekiyinza kuziyizibwa .

21

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Ku muti ogw’ekitiibwa ekyakaayakana nkuwanikiddeko Nze ebibala ebisingira ddala okuwooma, kale lwaki obyesambye n’osanyukira ebyo ebitali birungi nnyo? Bwotyo nno komawo eri ebyo ebisingako obulungi eri ggwe mu bwakabaka obw’omu ggulu.

22

OWANGE GGWE OMWANA W’OMWOYO!

Nkutonze ggwe mu kitiibwa, naye ate ggwe ne weefeebya. Kale nno golokoka ofune ekyo ekyakutonderwa ggwe.

23

OWANGE GGWE OMWANA W’OYO OW’OKU NTIKKO! (rv171018)

Nkukoowoola ggwe eri ekyo ekitaggwaawo, naye ate ggwe onoonya ekyo ekisaanawo. Kiki ekikuleetedde okuzira okwegomba Kwaffe n’onoonya okukwo ggwe wennyini?

24

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Tokola ebyo ebitakusaanidde kukola, wadde okweyagaliza ebyo ebitali bibyo. Vuunama mu maaso ga Katonda wo, Mukama ow’amaanyi n’obuyinza.

25

OWANGE GGWE OMWANA W’OMWOYO!

Tokikinalanga ku mwavu, kubanga mmukulembera Nze mu kkubo lye era ne nkutunuulira ggwe mu mbeera yo ey’obwonoonyi era nkubutaabutanya emirembe gyonna.

26

OWANGE GGWE OMWANNA W’OBULAMU!

Oyinza otya ggwe okwerabira ebisobyo byo ne weefulukutira mu bisobyo by’abalala? Oyo yenna akola kino Nze mukolimira.

27

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Tosiinyanga ku bibi by'abalala so nga naawe okyali mwonoonyi. Bwe kalikutanda n’omenya etteeka lino, olikolimirwa ggwe, era kino nkiwaako obujulirwa Nze.

28

OWANGE GGWE OMWANA W’OMWOYO!

Omanye ggwe amazima: Oyo akubiriza abantu okubeera abenkanya ate ye n’akola obubi si omu ku bange Nze, newaakubadde alina erinnya Lyange.

29

OWANGE GGWE OMWANA W’OBULAMU!

Toyagalizanga muntu yenna ekyo ggwe ky’otandyeyagalizza, era toyogeranga ekyo ggwe kyotosobola kukola: Kino kiragiro Kyange eri ggwe, kigonderenga.

30

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Tokodowalanga singa omuddu Wange asaba ekintu kyonna okuva eri ggwe, kubanga amaaso ge maaso gange Nze; bwotyo okwatibwenga ensonyi mu maaso Gange.

31

OWANGE GGWE OMWANA W’OBULAMU! Longoosa ebisobye buli lunaku nga tonnayitibwa kwewozaako ; kubanga okufa, okuteeranga, kujja kukugwira era oliyitibwa okunnyonnyola ebikolwa byo.

32

OWANGE GGWE OMWANA W’OYO OW’OKU NTIKKO !

Nfudde walumbe omubaka ow’essanyu gy’oli. Kale onakuwalira ki? Nnakola ekitangaala okumulisa ekitiibwa kyakyo ku ggwe. Lwaki okyekweka?

33

OWANGE GGWE OMWANA W’OMWOYO!

N’amawulire g'ekitangaala ag'essanyu nkulamusa: jaguza! Eri embuga entukuvu nkukoowoola ggwe oyingire; okkalire munda mu yo bwotyo osobole okubeera mu mirembe egy’olubeerera.

34

OWANGE GGWE OMWANA W’OMWOYO!

Omwoyo omutukuvu gukuleetera amawulire ag'essanyu ag'okuddiŋŋana nate; kale olwo okungubagira ki? Omwoyo ogw’obuyinza gukunywereza mu nzikiriza Ye; lwaki weekweka? Ekitangaala ky’amaaso Ge kikukulembera; oyinza otya okubula?

35

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU! Tonakuwalanga okuggyako nga oli wala Naffe. Tojaguzanga wabula nga osemberera okumpi era nga okomawo eri Ffe.

36

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Jagulizanga mu ssanyu ly’emmeeme yo, bwotyo olyoke osaanire okunsisinkana Nze n’okwolesa obubalagavu Bwange.

37

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Teweeyambulanga kyambalo Kyange ekinekaanekana era teweefirizanga mugabo gwo okuva mu luzzi Lwange olw’ettendo, si kulwa nga olirumwanga ennyonta emirembe gyonna.

38

OWANGE GGWE OMWANA W'OBULAMU!

Tambuliranga mu mateeka Gange olw’okwagala Nze era weerekerezenga ebyo bye weegomba bw’oba nga onoonya essanyu Lyange.

39

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Tolagajjaliranga mateeka gange Nze oba nga oyagala obubalagavu bwange, era teweerabiranga okubuulirira kwange Nze singa oyagala okufuna okusiima kwange Nze.

40

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Singa wali osobola okufuumuukira mu bwaguuga bw’obwengula n’okuyita mu bugazi bw’eggulu, naye era tewandizudde bubudamo okuggyako mu kwewaayo mu tteeka Lyaffe era n’okwetoowaza mu Maaso Gaffe.

41

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Suutanga enzikiriza Yange bwentyo Nange nsobole okukubikkuliranga ebyama by’obukulu Bwange era n’okukumulisaako n’ekitangaala eky’olubeerera.

42

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Weetoowazenga mu maaso Gange, bwentyo ndyoke nkukyalirenga olw'ekisa Kyange. Golokoka okolerere obuwanguzi bw’enzikiriza Yange, bwotyo nno ng’okyali ku nsi osobole okufuna obuwanguzi.

43

OWANGE GGWE OMWAMA W'OBULAMU!

Yatulanga Nze ku nsi Yange, bwentyo Nange nkujjukire mu ggulu Lyange, olwo amaaso Gange n’agago gafune essanyu.

44

OWANGE GGWE OMWANA WA NNAMULONDO!

Amatu go ge matu Gange, gawulizenga. Amaaso go ge maaso Gange, galabisenga, bwotyo okuva ku ntobo y’emmeeme yo osobole okuwa obujulirwa eri obutukuvu Bwange obugulumizibwa, era Nange munda Yange Mwennyini ndyoke mpe obujulirwa eri ekifo kyo ekigulumizibwa.

45

OWANGE GGWE OMWANA W’OBULAMU!

Noonyanga okufa kw’omujulizi mu kkubo Lyange, nga oli mumativu olw’essanyu Lyange era osiime ekyo Nze kye ndagira, olwo olyoke owummulenga Nange wansi w’ekisiikirize eky’ekitiibwa emabega wa weema ey’ekitiibwa.

46

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Lowooza nnyo era fumiitiriza. Kiruubirirwa kyo okufiira mu kiriri kyo, oba okuyiwa omusaayi gw’obulamu bwo mu nfuufu, nga omujulizi mu kkubo Lyange, awo olyoke ofuuke okwolesebwa kw’ekiragiro Kyange era abikkula ekitangaala Kyange mu lusuku olusinga obutukuvu? Lamula mu butuufu, owange ggwe omuddu!

47

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Ndayira ku lw’obulungi Bwange! Okusaabe enviiri zo n’omusaayi gwo, kikulu nnyo mu maaso Gange okusinga okutondebwa kw’ensi yonna n’ekitangaala ky’ensi zombi. Fuba nnyo okutuuka ku kino, owange ggwe omuddu!

48

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Buli kintu kirina akabonero kaakyo. Akabonero k’okwagala kabeera buvumu wansi w’ekiragiro Kyange wamu n’obugumiikiriza wansi w’okugezesa Kwange.

49

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Omwagalwa omutuufu ayaayaanira nnyo okubonaabona kale nga omujeemu bw’ayaayaanira okusonyibwa, era n’omwonoonyi nga bw’ayaayaanira obusaasizi.

50

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Oba nga obuyinike tebukutuuseeko mu kkubo Lyange, onooyinza otya okutambulira mu makubo g'abo abamativu n’ebyo Nze byenjagala? Singa tofuna kubonaabona olw’okwegomba okunsisinkana Nze, oliyinza otya okufuna ekitangaala mu kwagala kwo okw’obubalagavu Bwange?

51

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Ekibabu Kyange kwe kuteesa Kwange, ku ngulu muliro na kululuma, naye munda kitangaala na busaasizi. Weeyune okukituukamu bwotyo olyoke ofuuke ekitangaala ekitaggwawo era n’omwoyo ogutafa. Kino kye kiragiro Kyange eri ggwe, kigonderenga.

52

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Singa omukisa omulungi gukukyaliranga ggwe, tojaguzanga, era singa akanyoomonyoomo kakutuukako, tonyikaalanga, kubanga byombi birisaanawo, ne bibulirawo ddala.

53

OWANGE GGWE OMWANA W’OBULAMU!

Bw’oyavuwalanga, tonakuwalanga; kubanga ekiseera bwe kirituuka Mukama ow’obugagga alikukyalira. Totyanga kufeebezebwa, kubanga luliba lumu olifuna ekitiibwa.

54

OWANGE GGWE OMWANA W'OBULAMU!

Singa emmeeme yo yeekwata ku bwakabaka obw’olubeerera era obutasaanawo, era ne ku bulamu buno obweddanedda obw’emirembe n’emirembe, lekulira obwakabaka buno obuggwawo era abw’akaseera obuseera.

55

OWANGE GGWE OMWANA W’OBULAMU!

Teweemaliranga ku nsi eno, kubanga n’omuliro Ffe tugezesa zaabu, ate ne zaabu Ffe tugezesa abaddu baffe.

56

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Ggwe oyaayaanira zaabu naye Nze neegomba okusumulwa kwo okuva ku yo. Ggwe werowooza okubeera mugagga nga omulina, naye Nze ndaba obugagga bwo mu butukuvu bwo nga zaabu taliimu. Ndayira obulamu Bwange! Gano ge magezi Gange, ate okwo kwe kulowooza kwo okutaliimu; ekkubo Lyange liyinza litya okukwatagana n’eryo eriryo?

57

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Obugagga Bwange mubugabirenga abanaku bange Nze, awo nno mu ggulu mulyoke mufunenga eby’obuggaga okuva mu materekero g’ebyo ebitaggwawo era n’ebyobugagga eby’ekitiibwa eky’olubeerera. Naye ndayira Nze ku lw’obulamu bwange! Okuwaayo omwoyo gwo kintu kya kitiibwa okusinga ebirala byonna singa musobola okulaba n'eriiso Lyange.

58

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Yeekaalu y’obulamu ye nnamulondo Yange; girongoose eveemu ebirala byonna, bwentyo mu yo Nze ndyoke nnywezebwe era nzikalire omwo.

59

OWANGE GGWE OMWANA W'OBULAMU!

Omutima gwo ge maka gange Nze; gutukuze olwo nange Nze ndyoke nguyingiremu. Omwoyo gwo kye kifo kyange Nze mwe mbikkulirwa, gulongoose ku lw’okwolesebwa kwange Nze.

60

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Teeka omukono gwo mu kifuba Kyange, bwentyo Ndyoke ntumbiire waggulu wo, nga mmasamasa era nga njakaayakana.

61

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Linnyalinnya oyingire mu ggulu Lyange, bwotyo olyoke ofune essanyu ly'okuddiŋŋana nate; era okuva ku kikompe eky’ekitiibwa ekitaggwawo, onywe envinnyo esinga endala yonna.

62

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Omaze ennaku nnyingi nga weefulubeetera mu ebyo ebisanyusa era n’ebirowoozo ery’obutaliimu. Onoomala bbangi ki nga weebase mu kiriri kyo? Yimusa omutwe gwo okuva mu tulo, kubanga Enjuba erinnyelinnye n’etuuka ku ttuntu, oboolyawo enaakwakako n'ekitangaala ekiboolerevu.

63

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Ekitangaala kikwakidde ggwe okuva ku lukingirizi lw’Olusozi olutukuvu era n’omwoyo gw’okutangaazibwa gukuntidde mu Sinai w’omutima gwo. Noolwekyo, weesumulule okuva mu kantuntunu w'ebirowoozo ebitaliimu nsa era oyingire mu lubiri Lwange, bwotyo onoosaanira obulamu obutaggwawo era osobole okunsisinkana Nze. Olwo nno okufa tekuuyinze kukutuukako, yadde obukoowu oba emiteeru.

64

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Okubeerawo Kwange okw’olubeerera Nze naakwetondera, olubeerera luno ndutonze Nze ku lulwo. Lufuule ekyambalo eky’omubiri gwo. Obumu Bwange bukugu bwa mikono Gyange; mbutaddewo Nze ku lulwo; bwambalenga bulijjo, bwotyo, olubeerera, osobole okubeera okubikkulirwa Kwange okw’emirembe gyonna.

65

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Obuyinza Bwange kye kirabo Kyange eri ggwe, era n’ekitiibwa Kyange kabonero k’okusaasira Kwange eri ggwe. Ekyo ekinsaanira teri n’omu alikitegeera, wadde omuntu yenna okubimenya. Ddala ddala, mbikuumidde mu materekero Gange ag’ekyama era ne mu nkuluze z’ekiragiro Kyange, nga akabonero ak’ekisa ky’okwagala Kwange eri abaddu Bange era n’okusaasira Kwange eri abantu Bange.

66

ABANGE MMWE ABAANA B’ENNONO ENTUKUVU ETALABIKA!

Muliziyizibwa okunjagala Nze era n'emyoyo girisoberwa nga ginjogerako. Kubanga emmeeme teziyinza kuntegeera Nze wadde Nze okugya mu mutima gwonna.

67

OWANGE GGWE OMWANA OW'OBUBALAGAVU!

Ndayirira omwoyo Gwange era n’ekisa Kyange! Ndayirira okusaasira Kwange n’obubalagavu Bwange! Ebyo byonna bye nkubikulidde ggwe n’olulimi olw’amaanyi, era ne mbikuwandiikira n’akafumu ak’obuyinza, bibadde bisinziira ku busobozi bwo n'okutegeera kwo, so si ku mbeera Yange n’obuseeneekerevu bw’eddoboozi Lyange.

68

ABANGE MMWE ABAANA B’ABANTU!

Temumanyi mmwe lwaki mwenna twabatonda Ffe okuva mu nfuufu y’emu? Bwemutyo wabulewo omu ku mmwe eyeegulumiza okusinga munne. Mulowooza nnyo ebiseera byonna mu mitima gyammwe engeri gye mwatondebwamu. Kubanga Ffe tubatonze mwenna okuva mu mubiri gwe gumu kibakakaatikako nammwe okubeera nga omuntu omu, mutambule n’ebigere bye bimu, mulye n’omumwa gwe gumu era mukkalire mu nsi y’emu, bwemutyo okuviira ddala ku ntobo y’obulamu bwammwe, nga muyita mu bikolwa n’emirimu gyammwe, obubonero bw’obumu era n’ennono y’okwerekereza biryoke byolesebwe. Kuno kwe kubuulirira kwange Nze, Abange mmwe eggye ly’ekitangaala! Muwulirize mmwe okubuulirira kuno bwe mutyo musobole okufuna ekibala eky’obutuukirivu okuva ku muti gw’ekitiibwa ogwewuunyisa.

69

ABANGE MMWE ABAANA B’OMWOYO!

Muli ggwanika Lyange, kubanga mu mmwe nkuumira amaluulu g’ebikusike Byange era n’amagezi ag’omuwendo omungi ag’okumanya Kwange. Mubikuumenga okuva eri abagwira mu baddu Bange era n’eri abatatya Katonda abali mu bantu Bange.

70

OWANGE GGWE OMWANA W’OYO EYEEBEEZAAWO YEKKA MU BWANNAMUNIGINA W’OBWAKABAKA BWE!

Kimanye ggwe, nti Nze nkufuuyeeko obuwoowo bwonna obw’obutuukirivu, nkubikulidde mu bujjuvu ekigambo Kyange, ntuukirizza mu ggwe ekisa Kyange, era nkwagalizza ggwe nange ekyo kyenneeyagaliza Nze ku Lwange. Kale nno weesiimire mu ebyo bye njagala Nze era n’okunsiimanga Nze.

71

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Wandiika ebyo byonna Ffe bye tukubikkulidde ne bwino ow’ekitangaala ku jjinja ly’omwoyo gwo. Singa kino tokisobola, kale nno bwino wo omufuule ennono y’omutima gwo. Kino bw’oba tosobola kukikola, olwo nno owandiise ne bwino w’omusaayi gwo oguyiiriddwa mu kkubo Lyange. Kino kinsingira Nze ebirala byonna obulungi, bwegutyo ekitangaala kyagwo kibeerere emirembe gyonna.

Persian

1

ABANGE MMWE ABANTU ABALINA EMMEEME EZ’OKUMANYA N’AMATU AG’OKUWULIRA!

Okukoowoola okusooka okw’Omwagalwa kwe kuno! Owange ggwe ennyonza enneekusifu! Tobeera walala wonna wabula mu nnimiro y’ebimuli bya looza eby’omwoyo. Owange ggwe omubaka wa Sulemani ow’okwagala! Tonoonya buddukiro bwonna okuggyako obwo obwa Sheba w’oyo omwagalwa we omulungi, era owange ggwe omwoyo ogw’olubereera! Tobeera walala wonna okuggyako ku lusozi olw'obwesimbu. Omwo mw’onoobeeranga, singa ku biwaawaatiro by’omwoyo gwo onootumbiira n’okutuuka mu bwakabaka obutaliiko kkomo era n’onoonya okutuuka ku kiruubirirwa kyo.

2

OWANGE GGWE OMWANA W’OMWOYO!

Ekinyonyi kinoonya ekisu kyakyo; ennyonza esikirizibwa obulungi bw’ekimuli kya looza; so nga ebinyonyi ebyo, nga gye mitima gy’abantu, olw’okusanyusibwa enfuufu efuumuuka, bawabye nnyo okuva ku kisu kyabwe eky’olubeerera, era nga amaaso gaabwe gakyuse ne gatunuulira ekiyubwe ky’obulagajjavu bafiirwa ekitiibwa ky’okubeerawo kw’obwakatonda. Kitalo! Nga kyewuunyisa n’okukwasa ennaku; ku lw’ekikopo ky’amazzi, beegaanye ennyanja z’obulamu ez’Oyo Ali Waggulu-Ennyo, era ne beesambira ddala olukungirizi lw’eggulu olusingira ddala okwakaayakana.

3

OWANGE GGWE OWOOMUKWANO!

Mu lusuku lw’omutima gwo tosimbamu kirala kyonna wabula ekimuli kya looza y’okwagala, era okuva ku nnyonza y’omukwano n’okwegomba, tota ekyo ky’okutte. Kuumanga omukwano gw’abo abatuukirivu era weewale okusseekimu n’abo abatatya Katonda.

4

OWANGE GGWE OMWANA W’OBWENKANYA!

Ludda wa eyo oyo alina gw'ayagala gy’ayinza okugenda okuggyako mu nsi y’omwagalwa we? Era ani oyo anoonya n’awummulira ewala okuva eri ekyo emmeeme ye kye yeegomba? Eri omwagalwa omutuufu, okuddiŋŋana bwe bulamu, ate okwawukana kwe kufa. Mu kifuba kye temuli bugumiikiriza era n’omutima gwe tegulina mirembe. Ne bweyandiweereddwa obulamu obutabalika, yandibwabulidde olwo ne yeeyuna mu kifo muganzi we gy’abeera.

5

OWANGE GGWE OMWANA W’ENFUUFU!

Ddala ddala mbagamba nti: Mu bantu bonna, oyo asingira ddala obulagajjavu y’oyo amala gawakanawakana nga aluubirira okukikinala ku muganda we. Mwatule nti: Abange mmwe obooluganda! Mukkirize ebikolwa, so si bigambo, bye biba bibeera ekyambalo kyammwe.

6

OWANGE GGWE OMWANA W’ENSI!

Manyira ddala kino nti emmeeme ekyalimu ettondo ly’ensaalwa, terituuka mu bwakabaka Bwange obutaggwawo, wadde okunuusa ku buwoowo obulungi obw’obutuukirivu obuva mu bwakabaka Bwange obw’obutukuvu.

7

OWANGE GGWE OMWANA W’OKWAGALA!

Okyabuzaayo kigere kimu kyokka okutuuka mu bifo ebya waggulu eby’ekitiibwa, era n’okuva ku muti ogw’okwagala ogw’omu ggulu. Tambulayo ggwe ekigere kimu era n’ekiddako oyingire mu bwakabaka obutaliiko kkomo era oyingire mu weema ey’olubeerera. Kale nno tega okutu eri ebyo ebibikuddwa Akafumu Akeekitiibwa.

8

OWANGE GGWE OMWANA W’EKITIIBWA!

Tambula bunnambiro mu kkubo ery’obutukuvu, oyingire mu ggulu ly’okusseekimu Nange. Tukuza omutima gwo ne kajjampuni w’omwoyo, era weeyunire embuga y’Oyo Ali Waggulu Ennyo.

9

OWANGE GGWE EKISIIKIRIZE EKY’OLUWUNGUKO!

Somoka ova mu bifo eby’awansi eby’okubuusabuusa era olinnyerinnye mu bifo ebigulumivu ebyakakasibwa. Zibula eriiso ery’amazima, bwotyo olyoke olabe Obubalagavu bwennyini obutabikiddwako era okungirize nti: Mukama agulumizibwe, omutonzi asingira ddala bonna obulungi!

10

OWANGE GGWE OMWANA OW’OKWEGOMBA!

Wuliriza kino: Eriiso ery’omubiri teririmanya Omubalagavu ataggwaawo, wadde emmeeme enfu okusanyukira mu kirala kyonna wabula mu kimuli ekiwotose. Kubanga ebifaanagana binoonya binnaabyo, era ne bisanyukira okubeera ne bye bifaanagana nabyo.

11

OWANGE GGWE OMWANA W’ENFUUFU!

Ziba amaaso go bw’otyo osobole okulaba obubalagavu Bwange; ziba amatu go, bwotyo osobole okuwuliriza oluyimba oluseeneekerevu mu ddoboozi Lyange; wejjeemu ebiyigibwa byonna, olwo nno osobole okugabana ku magezi Gange; era weetukulize ddala okuva ku by’obugagga, bwotyo osobole okufuna omugabo ogw’enkalakkalira okuva ku nnyanja ey’obuggaga Bwange obutaggwaawo. Ziba amaaso go, kwe kugamba, oleme okulaba ebirala byonna okuggyako obubalagavu Bwange; ziba amatu go eri ebirala byonna okuggyako ekigambo Kyange; weerabire eby’okuyiga ebirala byonna okuggyako okkumanya Nze; olwo nno nga osobola okulaba obulungi, omutima omulongoofu n’okutu okuwuliriza, olyoke osobole okuyingira mu mbuga y’obutukuvu Bwange.

12

OWANGE GGWE OMUNTU ALINA AMAASO ABIRI!

Zibiriza eriiso erimu ate ozibule eddala. Zibiriza eryo eriraba eby’ensi n’ebyo byonna ebigirimu, ate ozibule eddala eri obubalagavu obutukuziddwa obw’Oyo Omwagalwa.

13

ABANGE MMWE ABAANA BANGE!

Nina okutya si kulwa nti, awatali luyimba lw’ejjiba ery’omu ggulu, mujja kuddamu okutubira mu nnyanga y’okubulira ddala, era, kubanga temwekalirizanga bubalagavu bw’ekimuli kya looza, muddayo eri amazzi n’ebbumba.

14

ABANGE MMWE ABEEMIKWANO!

Temusuula ttayo obubalagavu obutaggwawo ku lw’obubalagavu obuteekwa okuzikirira, era temuteeka kwegomba kwammwe ku nsi eno etali ya lubeerera ey’enfuufu.

15

OWANGE GGWE OMWANA W’OMWOYO!

Ekiseera kirituuka, ennyonza ey’obutukuvu weetalisobolera kubikkula byama ebyekusifu era mwenna muliggibwako oluyimba olutukuvu n’eddoboozi eriva mu ggulu.

16

OWANGE GGWE ENNONO Y’OBULAGAJJAVU!

Ennimi z’okubikkulirwa nkuyanja eneekusifu zoogera ebigambo bye bimu ebitonotono, era ebyama nkuyanja ebikisiddwa bibikkulwa mu luyimba lumu olumpimpi; naye nno kitalo, teri kutu kuwuliriza, wadde emmeeme okutegeera.

17

ABANGE MMWE ABANYWANYI!

Emiryango egiyingira mu Ggulu gigguddwawo era n’obubudamo bw’oyo omwagalwa we bwambaziddwa n’omusaayi gw’abaagalwa, naye era abasinga obungi basubwa ekibuga kino ekitukuvu, so nga ate era ne ku abo abatono ddala, teri n’omu wabula abo ab’olubatu abazuuliddwa nga balina emmeeme ennongoofu n’omwoyo ogutukuziddwa.

18

ABANGE MMWE ABATUUZE MU LUSUKU OLUSINGA OBUGULUMIVU! (rv171030)

Mulangirire eri abaana ab’obukakafu nti mu bwakabaka obutukuvu, obuli okumpi n’olusuku olutukuvu, ennimiro empya erabise, nga yeetoolooddwa abatuuze abali mu bwakabaka obwo obuli waggulu ennyo wamu n’abatuuze ab’omu lusuku olugulumizibwa. Noolwekyo, mulafuubane musobole okutuuka mu kifo ekyo, era musobole okutaggulula ebyama by’okwagala okuva mu bimuli ebifuuyibwako empewo era muyige ekyama eky’obutukuvu n’amagezi agatuukiridde okuva mu bibala byabyo ebitaggwawo. Gafuna ekiwummulo amaaso g’abo abayingira ne babudama mu kifo ekyo!

19

ABANGE MMWE MIKWANO GYANGE!

Mwerabidde amatulutulu ag’ekitalo agaali gaakaayakana, mu bitundu ebitukuvu era eby’omukisa, ebyali byetoolodde ekifo ekyo, mwenna bwe mwakuŋŋaanira we naali Nze wansi w’ekisiikirize ky’omuti ogw’obulamu, ogusimbiddwa mu lusuku olw’obutukuvu-bwonna? Mu ntiisa ennyingi mwawuliriza nga njatula Nze ebigambo bino ebisatu ebisingira ddala obutukuvu: Abange mmwe abeemikwano! Temusukkulumya ebyo bye mwagala okusinga Ebyange, temwegombanga ebyo Nze bye sibaagalizza, era temunsembereranga Nze n’emitima egitaliimu bulamu, nga gisaabaanye n’okwegomba okw’ensi era n’okuyaayaana. Kale singa temukola kirala kyonna wabula ne mulongoosa emyoyo gyammwe, mu kiseera kino mwandijjukidde ekifo ekyo n’ebyo ebikyetoolodde, era amazima g’ekigambo kyange Nze gandibadde geeraga lwatu eri mmwe mwenna.

Mu lwomunaana ku nnyiriri ezisingira ddala obutukuvu, mu Kiwandiiko ky’Olusuku Olutukuvu ekyokutaano, Ye agamba nti:

20

ABANGE MMWE ABAGALAMIDDE NGA ABAFU KU BITANDA EBY’OBUTAFAAYO!

Emirembe giyiseewo era obulamu bwammwe obw’omuwendo busemberedde okusaanawo, naye ate tewali kikkowe na kimu eky’obulongoofu ekituuse mu mbuga Yaffe ey’obutuukirivu okuva eri mmwe. Newaakubadde mutubidde mu ssemayanja w’obutakkiriza, naye era n’emimwa gyammwe mwefuula abakkiririza mu nzikiriza ya Katonda ey’amazima. Oyo Nze gwe nneenyinyala mmwe gwe mwagadde, era n’omulabe Wange gwe mufudde mukwano gwammwe. Newaakubadde bino byonna biri bwe bityo, mutambulira ku nsi Yange nga temwefiirayo era nga muli bamativu mwekka na mwekka, nga temufaayo nti ensi Yange ebakooye n’ebyo byonna ebigirimu bibeewala. Singa mwali musobola okuzibula amaaso gammwe, mu mazima mwandisukkulumizza ebibonoobono enkuyanja mu kifo ky’essanyu lino, era mwanditutte okufa kwennyini nga kwe kusinga obulamu buno.

21

OWANGE GGWE ENFUUFU EFUUMUUKA!

Neegomba nnyo okuseekimu naawe naye ggwe tontandeemu bwesigwa. Ekitala eky’obujeemu bwo kitemye ne kisuula wansi omuti ogw’essuubi lyo. Ebiseera byonna Nze ndi ku lusegere lwo, naye ate ggwe bulijjo oli wala okuva ne wendi Nze. Ekitiibwa ekitasaanawo Nze kye nakulondedde, naye ate ggwe ne weeronderawo obuswavu obutakoma. Naye nga bwe wakyaliwo ekiseera, komawo, era tosubwa mukisa gwo.

22

OWANGE GGWE OMWANA W'OKWEGOMBA!

Abayivu n’abagezigezi balafuubanidde emyaka mingi naye ne balemwa okutuuka mu maaso g’Oyo Oweekitiibwa-kyonna; obulamu bwabwe bwonna babumaze nga bamunoonya Ye, naye ne batalaba bubalagavu bwa bwenyi Bwe. Ggwe nga totaddeemu maanyi mangi nnyo watuuka ku kigendererwa kyo, era nga tonoonyezza ozudde ekigendererwa ky’okunoonya kwo. Naye nno, newaakubadde biri bwebityo, ggwe wasigala nga weezingiridde mu lutimbe lw’okwerowoozaako wekka, bwegatyo n’amaaso go tegaalaba bubalagavu bw’Omwagalwa, wadde n’engalo zo okukwata ku mukugiro gw’ekyambalo Kye. Ggwe alina amaaso, laba era weewuunye.

23

ABANGE MMWE ABATUUZE MU KIBUGA KY’OKWAGALA!

Omuyaga ogw’obulabe gutaataaganyizza omusubbaawa gw’olubeerera, era n’obubalagavu bw’Omuvubuka ow’omu ggulu bubikiddwa mu kizikiza ky’enfuufu. Omukulu asinga owa ba kabaka b’okwagala ayisiddwa bubi abantu abajoozi, era n’ejjiba ly’obutuukirivu lisibiddwa mu kkomera ly’enjala z’ebiwuugulu. Abatuuze mu kifo eky’ekitiibwa, n’eggye ery’omu ggulu bakuba ebiwoobe era bakungubaga, so nga mmwe mu ggandaalo ly’obwakabaka bw’obulagajjavu, era ne mwewaanawaana nga abeemikwano egy’amazima. Kale ebirowoozo byammwe nga bya butaliimu!

24

ABANGE MMWE ABASIRUSIRU SO NGA ATE MULINA ERINNYA ERIBAFUULA ABAGEZIGEZI!

Lwaki mwambala ne mwefuula nga abasumba so nga ate munda zammwe mufuuse emisege, nga mugenderera okutaagulataagula ekisibo Kyange? Era mmwe mulinga emmunyeenye, evaayo nga tebunnasaasaana, newaakubadde erabika nga eyakaayakana n’okutwakaala, etwala abatambuze ab’omu kibuga Kyange mu makubo ag’okuzikirira.

25

ABANGE MMWE ABALABIKA NG’ABALUNGI SO NGA MUNDA MULI KAZAMBI!

Mmwe mufaanana nga amazzi amalungi naye nga gakaawa, agalabika ku ngulu nga malongoofu ddala, naye bwe gagezesebwa Omukebezi omutukuvu, tewali, wadde ettondo, erikkirizibwa. Weewaawo, amagulu g’enjuba gakka mu ngeri y’emu ku nfuufu ne ku ndabirwamu, naye ate byawukana mu ngeri gye biragamu ekitangaala ky’enjuba nga emunnyenye bw’erabika okuva ku nsi: nedda, enjawulo yaabyo tegeraageranyizika.

26

OWANGE GGWE MUKWANO GWANGE MU KIGAMBO!

Fumiitiriza okumala akaseera. Wali owuliddeko nti ow’omukwano n’omulabe bandisaanidde okutuula mu mutima gwe gumu? Kale nno gobamu omulabe, bwatyo ow’Omukwano asobole okuyingira mu maka Ge.

27

OWANGE GGWE OMWANA W’ENFUUFU!

Ebyo byonna ebiri mu ggulu ne ku nsi mbiragidde bibeere bibyo, okuggyako omutima gw’omuntu, gwe nteeseteese okubeera amaka g’obubalagavu n’ekitiibwa kyange Nze; naye ate ggwe owadde amaka n’ekisulo Kyange eri omulala atali Nze, era buli kwolesabwa kw’obutuukirivu Bwange bwe kwanoonyanga obutuuliro Bwe bwennyini, mulala Ye gw’asangayo, era, nga emmomboze, ne yeeyuniranga obubudamu obw’Omwagalwa. Newaakubadde nga bwebityo bwe biri nkisizza ekyama kyo era ne sseegomba kuswalwa kwo.

28

OWANGE GGWE ENNONO Y’OKWEGOMBA!

Emirundi mingi ku matulutulu neerekerezza Nze obwakabaka obw’Olubeerera ne nnyingira mu maka go, era Nze ne nkusanga ku kitanda ekigonvu nga weefulukuta n’abalala abatali Nze Mwene. Bwentyo nno, nga ekimyanso ky’omwoyo, nnaddayo Nze mu bwakabaka obw’ekitiibwa obw’omu ggulu era ne sikisiinyaako wonna we nnagenda waggulu eyo eri amagye amatukuvu.

29

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUKISA!

Okuva mu ddungu eryereere, n’ebbumba ly’ekiragiro Kyange nnakutonda Nze, era ndagidde wabeewo, ku lw’okugunjulwa kwo, buli kabumbabulamu konna akali mu bulamu wamu n’ennono y’ebitonde byonna. Bwotyo bwe wali nga tonnava mu lubuto lwa nnyoko, nnakutegekera ensulo bbiri ez’amata amasu, amaaso okukukuuma era n’emitima okukwagala. Olwo’ekisa ky’okwagala kwange Nze kisiikirize ky’Okusaasira Kwange nnakulera Nze, era ne nkukuuma n’ennono y’ekisa n’okwagala Kwange. Era ekigendererwa Kyange mu bino byonna kyali nti ggwe osobole okutuuka mu bwakabaka Bwange obutaggwaawo era osaanire ebirabo Byange ebitalabika. Era nate ggwe walemera mu butafaayo bwo, era bwe wakulira ddala, walagajjalira ebirabo Byange byonna ne weemalira mu ndowooza zo ez’ebitaliimu, n’okufuuka n’ofuukira ddala omwerabize, era, nga mukyuka okuva ku miryango gy’Oyo Owoomukwano mwakkalira mu mbuga z’omulabe Wange.

30

OWANGE GGWE OMUDDU ASIBIDDWA ENJEGERE Z'ENSI!

Emirundi mingi nga emmambya esala empewo y’ekisa ky’okwagala kwange Nze yakufuuwako era n’ekusanga nga oli mu mattansejjere ku kiriri kyo eky’obutafaayo: Nga ekungubaga olw’akatyabaga k’olimu, eddayo gye yava.

31

OWANGE GGWE OMWANA W’ENSI!

Oba nga ggwe oyagala okubeera Nange, tonoonya mulala atali Nze; era oba nga ggwe oyagala okulaba obubalagavu bwange Nze, zibiriza amaaso go eri eby’ensi n’ebyo byonna ebigirimu; kubanga okwagala kwange Nze n’okwagala kw’oyo omulala atali Nze, kale nga omuliro n’amazzi, tebiyinza kubeera wamu mu mutima ogumu.

32

OWANGE GGWE OMUGWIRA GWE NKWANYE!

Omusubbaawa gw’omutima gwo gukoleezebwa n’amaanyi g’omukono gwange Nze, toguzikiza ggwe n’empewo embi ez’okwerowoozaako n’okwegomba. Ekivumula endwadde zo zonna kwe kunzijukira Nze, tokyerabiranga. Fuula okwagala kwange Nze ekyobugagga kyo, okikuume era okibiibiite mpozzi nga amaaso go n’obulamu bwo.

33

OWANGE GGWE MUGANDA WANGE!

Wuliriza ku ssanyu ly’ebimu ku bigambo by’olulimi Lwange oluwoomerevu, era weekatankire ensulo z’obutuukirivu enneekusifu okuva ku mimwa Gyange egivaamu obuwoomerevu. Siga ensigo z’amagezi Gange amatukuvu mu ttaka eggimu ery’omutima gwo, era ozifukirire n’amazzi ag’okukkiriza, bwatyo kitengejja ow’okumanya Kwange n’okutegeera, asobole okumeruka buto era atojjere mu kibuga ekitukuvu eky’omutima gwo.

34

ABANGE MMWE ABATUUZE MU LUSUKU LWANGE OLUTUKUVU!

Nga nkozesa emikono egy’ekisa n’okwagala nnasimba mu nnimiro y’olusuku olutukuvu omuti omuto ogw’okwagala n’omukwano gwo, era ngufukiridde n’enkuba ennungi ey’ekisa Kyange ekiboolerevu; kaakano nno ekiseera kyagwo eky’okubala ebibala nga bwe kituuse, lafuubana okugukuuma, era guleme okusanyiizibwawo omuliro ogw’okwegomba n’ebirowoozo ebibi.

35

ABANGE MMWE MIKWANO GYANGE!

Muzikize ettaala ey’obutamanya, era mukoleeze mu mmeeme zammwe omumuli ogw’okuluŋŋamizibwa okutukuvu okw’olubeerera. Kubanga mu bbanga eritali ly’ewala, abakebezi b’abantu tebagenda kukkiriza kintu kirala kyonna mu maaso g’Oyo Asinzibwa, wabula empisa n’ebikolwa eby’obutuukirivu ebitaliiko bbala.

36

OWANGE GGWE OMWANA W’ENFUUFU!

Abagezigezi beebo abatabaako kye boogera wabula nga balina ababawuliriza, mu ngeri y’emu nga omusenero, atawaayo kikompe okutuusa nga azudde oyo anoonya, era nga n’omwagalwa bw’atayinza kukuba kaluulu okuva ku ntobo y’omutima gwe yeekalirizza obubalagavu bwa muganzi we. Noolwekyo siga ensigo ez’amagezi n’okumanya mu ttaka ly’omutima gwo eddongoofu, era ozikuume nga ozikisizza, okutuusa nga amalanga ag’amagezi g’obutukuvu gameruse okuva mu mutima so si mu ttosi n’ebbumba.

Mu lunyiriri olusooka olw’Ekiwandiiko, kisengekeddwa era ne kiwandiikibwa, era munda mu kifo ekituvuku eky’essanduuko ya Katonda mukwekeddwamu:

37

OWANGE GGWE OMUDDU WANGE!

Toyabuliranga obwakabaka obw’olubeerera ne wettanira ebyo ebisaanawo, era teweggyangako obwakabaka obw’omu ggulu ku lw’okwegomba kw’ensi. Guno gwe mugga gw’amazzi ag’obulamu obutaggwaawo ogukulukuse nga guva mu luzzi olutakalira olw’akafumu k’oyo omusaasizi; besiimye abo abaganywa!

38

OWANGE GGWE OMWANA W’OMWOYO!

Yabya akaguli ko era kale nga phoenix y’okwagala bw’etumbiira mu lubaale lw’obutuukirivu. Weeyubule era, nga ojjuziddwa omwoyo gw’obusaasizi, okkalire mu bwakabaka bw’omu ggulu obutukuvu.

39

OWANGE GGWE OMWANA W’ENFUUFU!

Tosanyukanga olunaku oluyitawo bwe lukubeerera, era teweesubyanga ekiwummulo eky’emirembe. Towaanyisanga ennimiro ey’essanyu eritaggwawo n’entuumu y’enfuufu ey’ensi eggwawo. Nga oyimuka okuva mu kkomera lyo, yambuke otuuke mu nnimiro entukuvu waggulu, era nga ovudde mu kaguli ko ak’ekiseera obuseera buuka mu bbanga otuuke mu lusuku olutukuvu olw’Oyo Kabaka ow’Olubeerera.

40

OWANGE GGWE OMUDDU WANGE!

Weesumulule okuva mu njegere ez’ensi eno, era otaggulule omwoyo gwo okuva mu kkomera ery’okwerowoozaako. Vumbagira omukisa gwo, kubanga tegulidda nate gy’oli.

41

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUZAANA WANGE!

Singa obadde olaba obwakabaka obutaggwawo, wandirafuubanye okuva mu nsi eno ey’oluwunguko. Naye okukukweka obwakabaka obumu ate ne nkubikkulira obulala ky’ekyama ekikusike omuntu omulala yenna ky’atayinza kutegeera wabula abo abalongoofu mu mmeeme.

42

OWANGE GGWE OMUDDU WANGE!

Tukuza omutima gwo oguggyemu ettima, era nga teguliimu nsaalwa, oyingire mu mbuga y’obwakatonda entukuvu.

43

ABANGE MMWE MIKWANO GYANGE!

Mutambulirenga mu mpisa ennungi ezisanyusa ow'Omukwano, era mukimanye nti essanyu Lye liri mu ssanyu ly’ebitonde Bye. Ekitegeeza nti: tewali n’omu eyandiyingidde mu nju ya munne okuggyako nga munne asiimye, wadde okukwata ku by’obuggaga bwe oba okusukkulumya ye by’ayagala okukira ebyo ebya mukwano gwe, era mu ngeri yonna omuntu tasaana kunyuunyuunta munne. Kino mukirowoozeeko nnyo, mmwe abategeera eby'omu nda!

44

OWANGE GGWE MUNYWANYI WA NAMULONDO YANGE!

Towulira kibi, era tolaba kibi, teweefeebya, wadde okussa ekikkoowe oba okwaziirana. Toyogera kibi, bwotyo olyoke oleme ggwe okukiwulira nga kikwogerwako, era tozimbulukusa bisobyo by’abalala bwebityo n’ebibyo bireme okulabika nga binene; era toyagalizanga mulala yenna kufeebezebwa, bwekutyo n’okufeebezebwakwo kuleme okwanikibwa. Kale nno wangaala ennaku ez’obulamu bwo, ezitenkana akaseera akayita amangu, n’emmeeme yo eteriiko bbala, omutima gwo ogutaliimu kko, ebiriwoozo byo ebirongoofu, n’embeera y’obulamu bwo entukuvu, bwotyo nno, nga olina eddembe era nga oli mumativu, ggwe olyoke weesumulule okuva mu mubiri guno ogufa, era olyoke oyingire mu lusuku olukusike era obeerenga mu bwakabaka obutaggwawo emirembe n’emirembe.

45

KITALO! KITALO! ABANGE MMWE ABEEGOMBA AMASANYU G’ENSI!

Era nga obwangu bw’ekimyanso kya laddu bwe kiri nammwe bwemutyo mwefuumudde ne muyita ku Oyo Omwagalwa, era ne mussa emitima gyammwe ne mugimalira ku kwegomba ebya ssetaani. Muvuunamira endowooza yammwe ey’obutaliimu, ne mugiyita amazima. Mu kyusa amaaso gammwe eri eriggwa, ne mulituuma ekimuli. Tewali mpewo nongoofu ebavaamu mmwe, wadde n’empewo ey’okwerekereza tekunse okuva mu nsuku z’emitima gyammwe. Musudde muguluka okubuulirira okulungi okw’Omwagalwa era ne mukusangulira ddala okuva mu kiwandiiko ky’emitima gyammwe, era okufaanana nga ensolo ez’omu nsiko, mutaayaaya era obulamu bwammwe bwonna bwebulungulira munda mu ttale ky’okwegomba n'ekiruyi.

46

ABANGE MMWE ABOOLUGANDA ABATAMBUZE!

Lwaki mugayaaliridde okwogera ku Oyo Omwagalwa, ne mwewalira ddala ekifo Kye ekitukuvu? Ennono y’obubalagavu eri munda wa weema etageraageranyizika, etuuziddwa ku nnamulondo ey’ekitiibwa, so nga mmwe mwemalidde mu kuwakana okutaliimu. Obuloosa obulungi obw’obutuukirivu bubunye wonna era n’empewo ey’omukisa ekuntira wonna, naye ate mmwe muli mu kubonyaabonyezebwa okw’obulumi obungi era ne musubwa okugifuuyibwako. Zibasanze mmwe era n’abo abatambulira mu makubo gammwe era ne babagoberera nga balinnya mu bigere byammwe!

47

ABANGE MMWE ABAANA B’OKWEGOMBA!

Musuule eri ekyambalo eky’okwegulumiza, era mweyambule ekyambalo ky’okwekulumbaza.

Mu lw’okusatu ku nnyiriri ezisinga obutukuvu ezisengekeddwa ne ziwandiikibwa mu Kiwandiiko ekya Ruby n’akafumu k'Oyo atalabika kino kibikkuddwa:

48

ABANGE AB’OLUGANDA!

Mubeerenga abagumiikiriza buli omu eri munne era okwegomba kwammwe kuleme okubeera ku bintu ebya wansi. Temwewaaniranga mu kitiibwa kyammwe, era temuswalanga olw’okufeebezebwa kwammwe. Ndayira ku lw’obubalagavu bwange Nze! Ebintu byonna mbitonze Nze okuva mu nfuufu, era mu nfuufu eno Nze ndibizzaamu nate.

49

ABANGE MMWE ABAANA B’ENFUUFU!

Mutegeeze abagagga ku kusinda kw’abanaku mu matumbibudde, si kulwa nga obulagajjavu bubatwaala mu kkubo ery’okuzikirira, era ne bubasubya Omuti ogw' Obuggagga. Okugaba n’obugabi bubonero bwange Nze Mwene; yeesiimye oyo eyeenaanise ekyambalo ky’empisa zange Nze.

50

OWANGE GGWE EKYINYUSI KY’OKWEGOMBA!

Suula ddala wala okwegomba kwonna era onoonye okwesiima; kubanga oyo eyeegomba bulijjo akotoggerwa, era oyo asiima bulijjo ayagalwa era n’atenderezebwa.

51

OWANGE GGWE MUTABANI W’OMUZAANA WANGE!

Teweeraliikiranga olw’obwavu wadde okwenyumiriza olw’obugagga, kubanga obwavu buddirirwa obugagga, era n’obugagga buddirirwa obwavu. Naye ate okubeera omwavu mu byonna okuggyako mu Katonda kirabo kya magero, tonyoomanga muwendo gwa kino, kyaddaaki kirikufuula omugagga mu Katonda, era bwotyo olimanya amakulu agali mu bigambo bino, “Mu mazima mmwe muli baavu,” era n’ebigambo ebitukuvu, “Katonda Ye y’alina byonna,” kale nno nga emmambya esala ku matulutulu, birivaayo nga byakaayakana mu kitiibwa ku nkingirizi y’omutima gw’oyo omuganzi, era birikkalira nga binywevu ku nnamulondo y’obugagga.

52

ABANGE MMWE ABAANA B’OBULAGAJJAVU N’OKWEGOMBA!

Mmwe mukkirizza omulabe Wange okuyingira mu nnyumba Yange ne mugobamu mukwano Gwange, kubanga mmwe musinza omulala atali Nze mu kiggwa ky’emitima gyammwe. Muwulirize ebigambo eby’Oyo Owoomukwano era mukyuke okwolekera olusuku Lwe olutukuvu. Emikwano egy’ensi, nga gyenoonyeza ebirungi, girabika nga gyagalana, so nga Owoomukwano omutuufu abaagadde era abaagala ku lw’obulungi bwammwe; mazima ddala ayise mu kubonaabona kungi nnyo olw’okubaluŋŋamya mmwe. Temubeera bajeemu eri Owoomukwano nga oyo, wabula mwanguwe okutuuka eri Ye. Oyo y’enjuba y’ekigambo ky’amazima n’obwesigwa, evuddeyo ku matulutulu waggulu w’enkingirizi y’akafumu ka Mukama ow’amannya gonna. Mutege amatu gammwe bwemutyo musobole okuwulira Ekigambo kya Katonda, Omuyambi mu kabi, Eyeebeezaawo-Yekka.

53

ABANGE MMWE ABEENYUMIRIRIZA MU BUGAGGA OBUGGWAWO!

Mu mazima mukimanye nti obuggaga bbugwe wa maanyi wakati w’oyo anoonya n’okwegomba kwe, oyo ayagala ne muganzi we. Abaggaga, okuggyako abo aboomunaganwa, tebalituuka mu mbuga Ye, wadde okuyingira mu kibuga eky’okwesiima n’okweweerayo ddala. Yeesiimye oyo, ne bwabeera omugagga, ebyobuggaga bwe tebimuziyiza okuyingira mu bwakabaka obutaggwawo, wadde okumusubya obwakabaka obutasaanawo. Ndayira lw’Erinnya Erisingira Gonna Obukulu! Ekitiibwa ky’omuntu omugagga nga oyo kirimulisa abatuuze ab’omu ggulu, mu ngeri y’emu enjuba bw’emulisa abantu ab’oku nsi!

54

ABANGE MMWE ABAGAGGA KU NSI!

Abanaku abali mu mmwe buvunaanyizibwa Bwange; mukuumenga obwesigwa bwange Nze, era temwemaliranga ku ebyo byokka ebibasanyusa.

55

OWANGE GGWE OMWANA W’OKWEGOMBA!

Werongoose okuva mu bwonoonefu obuleetebwa eby’obuggaga era mu mirembe egya nnamaddala oyingire mu bwakabaka obw’obwavu; bwotyo olyoke weekatankire omubisi gw’obulamu obutaggwawo okuva mu luzzi olw’ensulo olw’okwerekereza byonna.

56

OWANGE GGWE MWANA WANGE!

Okutambulira awamu n’abatatya Katonda kwongera obuyinike so nga okusseekimu n'abatukirivu kuzigula obutalagge ku mutima. Oyo anoonya okutabagana ne Katonda kimugwanidde okwewaayo mu kutabagana n’abaagalwa Be; era n’oyo ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda, asaana awulirizenga ebigambo by’abalonde Be.

57

OWANGE GGWE OMWANA W’ENFUUFU!

Weekuume! So totambulanga n’oyo atatya Katonda era oleme okunoonyanga okusseekimu naye, kubanga okutabagana nga okwo kukyusa omutima omusanyufu ne gufuuka nga omuliro oguva mu ggeyeena.

58

OWANGE GGWE MUTABANI WOMUZAANA WANGE!

Oba nga wandiyagadde okunoonya ekisa eky’Omwoyo Omutukuvu, tabagana n’omutuukirivu, kubanga ye amaze okunywa ekikompe eky’obulamu obutaggwaawo ekiri mu mikono gy’Omuwanirizi w’Ekikompe atafa era okufanaana nga emmambya esala ku matulutulu bw’ezuukusa n’okumulisa emitima gy’abafu.

59

ABANGE MMWE ABALAGAJJAVU!

Temweyibaale nti ebyama by’emitima bisobola okukisibwa, nedda, mukimanye mu bukakafu bwakyo nti birambiddwa mu nnukuta ezirabika era byeyoleka mu lwatu mu Kifo Kye ekitukuvu.

60

ABANGE ABEEMIKWANO!

Ddala ddala mbagamba nti buli ekyo kye mukisizza mu mitima gyammwe eri Ffe kya lwatu era kitangaala nga obudde obw’emisana; naye okukisibwa kwakyo kibeera kisa na kwagala Kwaffe, so si lwa kusaanira kwammwe.

61

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUNTU!

Ettondo lya ssuulwe eriva mu buziba bwa ssemayanja ey’okusaasira Kwange, nditonnyesezza ku bantu b’omu nsi yonna, naye ate ne ssiraba n’omu akyuse okulinywa, mu ngeri y’emu nga buli omu bwaleseewo omubisi omutukuvu ogw’obumu n’avulubanira n’alookalookera ebikanja ebicuuma eby’obutali bulongoofu, era, nga basanyukira ekikompe ekyatika, basudde eri ekikompe eky’obubalagavu obutaggwaawo. Ekyenyinyalwa ky’ekyo ye mw’afunira essanyu.

62

OWANGE GGWE OMWANA W’ENFUUFU!

Toggya maaso go ku mubisi ogutenkanika ogw’Omwagalwa ow’olubeerera, togatunuuliza ebikanja ebicuuma era ebivunda. Weefunire ekikompe eky’obulamu obutaggwawo okuva mu mikono gy’Omuwaniriza w’Ekikompe omutukuvu, bwegatyo amagezi gonna gabeere gago, era olyoke osobolenga okuwulira eddoboozi ekkusike nga likowoola okuva mu bwakabaka obutalabika. Mukube ebiwoobe, mmwe abaluubirira eby’ensi. Lwaki muzize omubisi Gwange omutukuvu era ogw’emirembe gyonna ne mwettanira amazzi agafuumuka nga omukka?

63

ABANGE MMWE ABANTU B’ENSI!

Ddala ddala, mukimanye nti obuyinike obutasuubirwa bubalondoola, era nti ekibonerezo ekizito kibalindiridde. Temweyibaala nti ebyo bye mukoze bisanguddwa mu maaso Gange. Ndayira ku lw’obubalagavu Bwange! Ebikolwa byammwe byonna akafumu Kange kabirambye mu nnukuta ezirabika ku mayinja amagumu.

64

ABANGE MMWE ABAJOOZI MU NSI!

Mujje emikono gyammwe ku bikolwa eby’okunyigganya abantu, kubanga neerayiridde Nze obutasonyiwa kikolwa kyonna eky’omuntu ekitali kya bwenkanya. Eno ye ndagaano yange Nze gye ntaddewo nga etteeka eritaavengawo mu kiwandiiko ekikuumiddwa obutiribiri era kye ntaddeko envumbo yange Nze eyeekitiibwa.

65

ABANGE MMWE ABAJEEMU!

Obugumiikiriza Bwange bubawaze era n’okubonaabona Kwange okw’olutentezi kubafudde abalagajjavu, bwemutyo mwongedde amaanyi g’obukambwe bw’okwegomba okubi nga embalaasi eri mu lutalo olugitwala mu kabi k’okuzikirira. Mulowoozezza nti Nze sifaayo oba nnali simanyi?

66

ABANGE MMWE ABASEENZE!

Olulimi ndutonze olw’okunjatulanga Nze, temulujaajaamyanga n’ebyo ebiweebuula. Singa omuliro gw’okwelowoozako gukuyinza, jjukiranga ensobi zo ggwe so si nsobi ez’ebitonde Byange, kubanga buli omu ku mmwe amanyi bulungi embeera ze okusinga bw’amanyi ez’abalala.

67

ABANGE MMWE ABAANA B’AMALALA!

Ddala ddala, mukimanyi nti emmambya eyakaayakana nga bw’evaayo waggulu ku nkingirizi ly’obutukirivu obutaggwawo, bwebityo ebyama n’ebikolwa bya ssetaani ebikolebwa mu matumbibudde biriyanikibwa ne byeyolesa mu maaso g’abantu b’ensi yonna.

68

OWANGE GGWE OMUDDO OGUMERUKA OKUVA MU NFUUFU!

Lwaki emikono gyo egisaabaanye kazambi tegisoose kukwata ku kyambalo kyo, era lwaki emmeeme yo eyonooneddwa okwegomba n’okuyaayaana okubi enoonya okusseekimu nange Nze era n’okuyingira mu bwakabaka Bwange obutukuvu? Kale nga muli wala nnyo okuva ku ekyo kye mwegomba!

69

ABANGE MMWE ABAANA BA ADAMU!

Ebigambo ebitukuvu era n’ebikolwa ebirongoofu era ebirungi byambuka mu ggulu ettukuvu ery’ekitiibwa. Mufube bwebityo ebikolwa byammwe biryoke binaazibweko enfuufu y’okwerowoozaako era n’obunnanfuusi era okwatirwe ekisa mu mbuga ey’ekitiibwa, kubanga mangu ddala abakebezi b’abantu, mu maaso g’Oyo Asuutibwa, tebalikkiriza kirala kyonna wabula empisa ezitaaliko kamogo n’ebikolwa ebirongoofu ebitaliiko bbala. Eno y’enjuba ey’amagezi era ey’ekyama ekitukuvu eyakidde ku lukingirizi lw’eggulu ly’okwagala okutukuvu. Baweereddwa omukisa abo abagyettanira.

70

OWANGE GGWE OMWANA EYEEMALIDDE MU BY’ENSI!

Obwakabaka obw’obulamu busanyusa, singa oli wa kubutuukamu; bwa kitiibwa obwakabaka obutaggwaawo, bw’osomoka ensi ey’okufa; Kuwoomereza okusugumbiza okutukuvu singa onywera ku kikompe ekikusike okuva mu mikono egy’Omvubuka omutukuvu. Bwe kiriba kisobose n’otuuka mu kifo ekyo, olisumululwa okuva mu kuzikirira n’okufa, okuva mu kukuluusana wamu n’ekibi.

71

ABANGE MMWE MIKWANO GYANGE!

Mujjukire nate endagaano eyo gye mwakola Nange ku Lusozi Párán, olusangibwa munda mu bitundu ebitukuvu ebya Zamán. Ndeese eggye ery’omu ggulu wamu n’abatuuze mu kibuga eky’olubeerera, naye era kaakano ne ssirabamu mu mmwe n’omu anyweredde ku ndagaano eyo. Awatali kubuusabuusa amalala n’obujeemu bigisangudde okuva mu mitima gyammwe, ne mutasigalamu wadde akabonero kayo. Newaakubadde kino Nze nnakimanya, nalinda era ne ssaakyatuukiriza.

72

OWANGE GGWE OMUDDU WANGE!

Gwe oli nga obwogi bw’ekitala obukwekeddwa mu kizikiza eky’ekiraato kyakyo era nga n’omuwendo gwakyo gukwekeddwa omuweesi waakyo naatagumanya. Kale nno vaayo mu kiraato ky’okwerowoozaako n’okwegomba bwegutyo omuwendo gwo gulyoke gufuulibwe ogw’ekitiibwa era gwolesebwe eri ensi yonna.

73

OWANGE GGWE MUKWANO GWANGE!

Ggwe njuba ey’ensi z’omu bwengula obw’obutuukirivu Bwange, tokkiriza obwonoonefu bw’ensi kusiikiriza okwakaayakana kwo. Yuzaayuza taamusiya ey’obutafaayo, bwotyo nno nga ovaayo emabega w’ebire olyoke weeyerule nga oyakaayakana era oyambaze ebintu byonna ekyambalo ky’obulamu.

74

ABANGE MMWE ABAANA AB’OKWEGULUMIZA!

Musudde ttayo obwakabaka Bwange obutaggwaawo ne mulondawo obwakabaka obwa kiyitamuluggya, era mwewunda mu majolobera ag’ensi ne mugenyumiririzaamu. Ndayira ku lw’obubalagavu Bwange! Byonna ndibikuŋŋaanya wansi wa langi emu efaanagana ey’enfuufu era ne nsangulira ddala langi zino zonna ezenjawulo okuggyako abo abalonda ezange zennyiini, era okwo kwe kuluggusa okuva ku buli langi.

75

ABANGE MMWE ABAANA B’OBULAGAJJAVU!

Temwemalira ku bwakabaka obuggwaawo era temubweyagalirangamu. Mmwe muli nga ekinyonyi ekitalina kye kyekengera era nga kijjudde obuvumu kiyimbira ku ttabi; era awatali kulabulwa kwonna omuyizzi w’ebinyonyi Walumbe akiwanulayo n’akisuula ku ttaka, era oluyimba, endabika ne langi bisaanawo, sso ne bitalekwaawo mukululo. Noolwekyo muwulirize, Abange mmwe abaddu abaasibiddwa okwegomba.

76

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUZAANA WANGE!

Okuluŋŋamizibwa bulijjo kubadde kuweebwa mu bigambo, naye kaakano kuweebwa mu bikolwa. Buli omu ateekwa okwolesa ebikolwa ebirongoofu era ebitukuvu, kubanga ebigambo byogerwa buli omu awatali kusosola, so nga ate ebikolwa nga ebyo by’abo bokka abaagalwa Baffe. Kale nno mufube nnyo mu mmeeme ne mu mwoyo musobole okwatiikirira olw’ebikolwa byammwe. Noolwekyo bwetutyo bwe tubabuulirira mu kiwandiiko kino ekitukuvu era eky’ekitiibwa.

77

OWANGE GGWE OMWANA W'OBWENKANYA!

Mu biro eby’ettumbi omubalagavu Oyo Omulamu atalifa avudde ku ntikko y’omuwendo gw’obwesigwa okutuuka mu Sadratu’l-Muntaha, n’akuba ekiwoobe mu nkaaba ereetedde eggye ery’omu ggulu n’abatuuze ab’omu ggulu okwaziirana olw’okukungubaga Kwe. Kale nno nga Ye ali eyo, yabuuzibwa, okwaziirana n’okukulukusa amaziga byaki? Yaddamu nti: Nga bwe nnalagirwa, nnalindirira mu kussuubira ku lusozi olw’obwesigwa, naye saawunyirirza okuva mu abo abatuula ku nsi akaloosa ak’obwesigwa. Oluvannyuma bwe nnakoowoolebwa okudda nnatunula, era laba! amayiba agamanyiddwa ag’obutuukirivu gaali gabonyaabonyezebwa nnyo mu njala ez’embwa ez’oku nsi. Olwali olwo Omuzaana ow’omu ggulu yafuluma amangu ddala okuva mu nnyumba Ye ey’kitiibwa nga taamusiiya era nga ayakaayakana, era n'ababuuza amannya gaabwe, era gonna gaayogerwa okuggyako limu. Era bwe yeegayirirwa, ennyukuta eryo esooka n’eyatulwa, ekyaviirako abatuuze b’omu bisenge ebitukuvu okufubutuka mu bisulo byabwe eby’ekitiibwa. Era ennukuta eyookubiri bwe yali eyatulwa buli omu yagwa wansi ku ttaka. Mu kiseera ekyo eddoboozi lyawulirwa okuviira ddala mu kiggwa ekisingira ddala obutukuvu: “Mukome we mutuuse, sso temusukkawo”. Ddala ddala tuwa obujulirwa ku ebyo bye bakoze era bye bakola kaakano.

78

OWANGE GGWE OMWANA W’OMUZAANA WANGE!

Weekatankire amazzi ag’ensulo ag’ekyama ky’obutukuvu okuva ku lulimi lw’oyo omusaasizi, era olabe, okuva ku nsibuko y’ekigambo ekitukuvu, ekitiibwa ekibikuddwaenjuba ey’amagezi. Siga ensigo ez’amagezi gange Nze amatukuvu mu ttaka eddungi ery’omutima, era ozifukirire n’amazzi ag’obukakafu, bwekityo amalanga g’okumanya n’amagezi bisobole okutojjera buto era nga biramu nga biva mu kibuga ekitukuvu eky’omutima.

79

OWANGE GGWE OMWANA W’OKWEGOMBA!

Olituusa wa okutumbiira mu bwakabaka bw’okwegomba? Nnakugemulira ebiwaawaatiro, bwotyo osobole okubuuka otuuke mu Bwakabaka obutukuvu so si mu bifo omufumbekedde endowooza za ssetaani. Ekisanirizo nakyo nkikuwadde osunsulenga enviiri zange enzirugavu, so si kukisazisa bulago Bwange.

80

ABANGE MMWE ABADDU BANGE!

Mmwe muli miti egy’ennimiro Yange; muteekwa okubala ebibala ebirungi era eby’ettendo, bwemutyo mmwe mwennyini n’abalala musobole okubiganyulwamu. Bwekityo nno buli omu kimukakatako okwenyigira mu by’emikono n’emirimu emisomerere, kubanga mu gyo mwe muli ekyama ky’obugagga, Abange mmwe abantu abategeevu! Kubanga ebivaamu bisinziira ku makubo g’oyitamu okubituukako, era n’ekisa kya Katonda ginaakumalanga. Emiti egitabala bibala, gibaddenga era giribeeranga gya kusuulibwa mu muliro.

81

OWANGE GGWE OMUDDU WANGE!

Abantu abasingira ddala obubi beebo abatabala bibala ku nsi. Abantu abafaanana nga abo ddala babalibwa mu bafu, so nga ate mu maaso ga Katonda, abafu basinga abantu abo abagayaavu era abatalina mugaso.

82

OWANGE GGWE OMUDDU WANGE!

Abantu abasingira ddala obulungi beebo abakola emirimu egy’okuyitibwa kwabwe egivaamu ensimbi era ne bazikozesa olw’okweyimirizaawo bo bennyini n’abeŋŋanda zaabwe ku lw’okwagala kwa Katonda, Mukama ow’ensi zonna.

Omugole eyakisibwa era ow’ekitalo, eyakwekebwa nga bino tebinnabaawo wansi w’olutimbe lw’ebigambo, kaakano, ku lw’ekisa kya Katonda n’okusaasira Kwe okutukuvu, ayoleseddwa okufaanana nga ekitangaala ekyakaayakana ekireetebwa obubalagavu bw’Omwagalwa. Mpa obujulirwa, Abange mmwe abeemikwano, nti okusaasirwa kutuukiridde, n’okuwakana kukomye, obukakafu bweyolese era n’obujulizi buleeteddwa. Kakaano ka tulabe okulafuubana kwammwe mu kkubo ly’okwerekereza ebirala byonna kye kulireeta. Mu ngeri eno okusaasira mwe kwakakasibwa mu mmwe n’eri abo abali mu ggulu ne mu nsi. Ettendo libe eri Katonda, Mukama ow’Ensi zonna.

Bahá'u'lláh

Windows / Mac