Return   Facebook   Zip File

Obligatory

Eddibwamu omulundi gumu mu ssaawa abiri mu nnya.

Oyo yenna ayagala okuddamu essaala eno, asaana ayimirire era akyukire Katonda, era, nga ayimiridde mu kifo kye, asaana atunule ku ddyo ne ku kkono, nga alinga alindirira okusaasirwa Mukamaawe, Asinga okusaasira n’ekisa. Oluvannyuma agambe nti:

Ayi Mukama Ggwe ow'amannya gonna era Omutonzi w'ensi zonna! Nkwegayirira Ggwe mu Abo Enjuba ez’Okubikkulirwa Kwo okw’Ennono Yo etalabika, Omusuutwa Asingira-ddala, Oweekitiibwa-Kyonna, okufuula essaala yange omuliro ogunaasaanyaawo entimbe ezinziyiza okulaba obubalagavu Bwo, era nga ekitangaala ekinankulembera okutuuka ku ssemayanja w’Okubeerawo Kwo.

Kati agolole emikono gye mu kwegayirira Katonda – agulumizibwe omutukuvu Oyo -- era ayatule nti:

Ayi Ggwe Eyegombebwa ensi yonna era Omwagalwa w'amawanga! Ondaba nga nkyukidde eri Ggwe, era nga ndese ebirala byonna okuggyako Ggwe, era nga nneekutte ku munagiro Gwo, nga bwe guseetuka obutonde bwonna butabanguka. Nze ndi muddu Wo, Ayi Mukama wange, era mutabani w’omuddu Wo. Laba nze nyimiridde nga mmaliridde okukola ebyo Ggwe by'oyagala era n’ebyo Ggwe by'osiima, era nga sirina kirala kye njagala okuggyako ekyo ekikusanyusa Ggwe. Nkwegayirira Ggwe kulwokusaasira Kwo okujjuza Ssemayanja era ne ku lw’ekisa Kyo ekyaka ng’Emmunyeenye Eyemisana ey’ekisa Kyo okukola omuddu Wo nga Ggwe bw'oyagala era nga bw’osiima. Olwamaanyi Go agatenkanika! Buli ekyo kyonna ekibikkuliddwa Ggwe kwe kwegomba kw'omutima gwange era emmeeme yange kyeyagala. Ayi Katonda, Katonda wange! Obutatunuulira ssuubi newaakubadde ebikolwa byange, wabula okutunuulira ekyo Ggwe ky’oyagala ekibuutikidde eggulu n'ensi. Ndayira mu Linnya Lyo Erisinga-gonna, Ayi Mukama Ggwe ow'amawanga gonna! Okuyaayaana kwange kuli ku ebyo byokka Ggwe by’osiima n’okwagala kwange ku ebyo by’oyagala.

Kati asaana afukamire, era nga avuunise ekyenyi kye wansi, asaana agambe nti:

Ogulumizibwe Ggwe okusinga okunnyonnyola kw’omuntu yenna wabula Ggwe Mwene, era n’okutegeera kw’omulala yenna wabula Ggwe.

Olwo asaana ayimirire era agambe nti:

Ofuule essaala yange, Ayi Mukama wange, ensulo y'amazzi ag'obulamu mwe nnaabeeranga okumala ebbanga lyonna obwakabaka Bwo lye buliwangaala, era ne nsobola okwatulanga Ggwe mu buli nsi eri mu nsi Zo zonna.

Kati asaana agolole emikono gye nate mu kwegayirira kwe, era agambe nti:

Ayi Ggwe asaanuula emitima n’emmeeme ebikwesudde, era nnyini muliro gw’okwagala ogubengeya mu nsi yonna ekoledde oluyiira! Nkwegayirira Ggwe ku lw'Erinnya Lyo omuyitibwa okujeemulula obutonde bwonna, oleme kunnyima ekyo Ggwe ky’olina, Ayi Ggwe afuga abantu bonna! Ggwe olaba, Ayi Mukama wange, omugwira ono nga yeeyuna okutuuka mu maka agasinga okugulumizibwa wansi wa weema y’ekitiibwa Kyo era munda mu bifo by’okusaasira Kwo; era omwonoonyi ono anoonya ssemayanja w'okusonyiwa Kwo; era omuwombeefu ono anoonya embuga y’ekitiibwa Kyo; era ekitonde kino ekinaku kinooya ensibuko y’obugagga Bwo. Obuyinza bubwo Ggwe okulagira nga Ggwe bw’oyagala. Njulira nti Ggwe oteekwa okutenderezebwa olw’ebyo Ggwe by’okola, era n’okugonderwa mu biragiro Byo, era n'obutakugirwa Bwo obw’olubeerera mu ebyo Ggwe by’olagira.

Kati olwo ayimuse emikono gye, era addemu emirundi essatu Erinnya Erisingira ddala gonna (Alláh-u- Abhá). Nga amaze, ate olwo akutame nga emikono gye agitadde ku maviivi mu maaso ga Katonda – agulumizibwe omutukuvu Oyo – era agambe nti:

Ggwe olaba, Ayi Katonda wange, emeeme yange nga bw’etundugga munda mu mubiri gwange, mu kuyaayaana kwayo okukusinza, era ne mu kwoya okukujjukira era n’okukusuuta Ggwe nga bw’ekakasa ebyo Olulimi lw’Etteeka Lyo bye luwaddeko obujulizi mu bwakabaka bw'Ekigambo Kyo, era n’eggulu ly'amagezi Go. Njagala, mu mbeera eno, Ayi Mukama wange, okukwegayirira ebyo byonna ebiri eri Ggwe, nsobole okwolesa obunaku bwange, era nkungirize obugabi Bwo n'obuggaga Bwo, era nsobole okulangirira obunafu bwange, era njolese amaanyi Go n'obuyinza Bwo.

Olwo ayimirire, ayimuse emikono gye emirundi ebiri waggulu nga awanjagira omutonzi we ayatule nti:

Tewali Katonda mulala wabula Ggwe, Ayinza-byonna, Omugabi wa byonna. Tewali Katonda mulala okuggyako Ggwe, Omulamuzi, okuva mu lubereberye ne mu nkomerero. Ayi Katonda, Katonda wange! Okusonyiwa Kwo kumpadde amaanyi, era n'okusaasira Kwo kumpadde obuvumu, era n’okukowoola Kwo kumpawamudde, era n'ekisa Kyo kinnyimusizza ne kinkulembera okutuuka eri Ggwe. Kale nze ani eyandyetantadde okuyimirira ku wankaaki w'ekibuga ky’okubeerawo Kwo, oba okutunuza obwanga bwange okwolekera ekitangaala ekyaka okuva mu ggulu ly'okwagala Kwo? Ggwe olaba, Ayi Mukama wange, ekitonde kino ekijjudde ennaku nga kikonkona ku luggi lw’ekisa Kyo, era n’omwoyo guno ogw’akaseera obuseera nga gunoonya omugga gw’obulamu obutaggwaawo okuva mu mikono gy’obugabirizi Bwo. Eriryo ly’etteeka ebiseera byonna, Ayi Ggwe Oyo Mukama w'amannya gonna, era nze kye nina okukola kwe kukkiririza ddala era n'okweweerayo ddala eri ekyo Ggwe ky’oyagala, Ayi Ggwe Omutonzi w'ensi zonna!

Kati olwo awanike emikono gye emirundi esatu, era agambe nti:

Katonda Mukulu okusinga omulala yenna!

Kati olwo n’alyoka afukamira era, nga akutamizza omutwe gwe wansi, agamba nti:

Ggwe oli waggulu nnyo w’ettendo ly’abo abali okumpi Naawe ne litasobola kulinnya okutuuka okumpi n’ekitiibwa Kyo, oba ebinyonyi by’emmeeme z’abo abeeweerayo ddala eri Ggwe okutuuka ku luggi lwa wankaaki Wo. Njulira nti Ggwe otukuzibwa okusinga obubonero bwonna era Ggwe oli mutukuvu okusinga amannya gonna. Teri Katonda wabula Ggwe, Asuutibwa Okusinga byonna, Oweekitiibwa-kyonna.

Kati ate n’atuula era n’agamba nti:

Njulira ku ekyo obutonde bwonna bwe kiwaddeko obujulizi, era n’Eggye ly’Abatuukirivu eyo waggulu, era n’abatuuze ab’omu Lusuku Olutukuvu oluli waggulu ennyo, ate okusukka ku abo, Olulimi lw’Ekitiibwa kyennyini nga luva mu Bwengula bw’ekitiibwa kyonna, nti Ggwe Katonda, teri Katonda wabula Ggwe, era nti n’Oyo ayoleseddwa kye Kyama Ekikusike, Akabonero Akoomuwendo, nga mu kuyita mu Ye ennukuta B-E-E-R-A (beera) mwe zaayungibwa era n'ezirukibwa wamu. Njulira nti Oyo Ye nnyini linnya eriwandiikiddwa n’Akafumu k'Oyo Ali Waggulu ennyo, era Ye nga y’ayogerwako mu Bitabo bya Katonda, Mukama owa Nnamulondo ey'omu ggulu, ne ku nsi.

*Kati olwo n’alyoka ayimirira butengerera era n’agamba nti:

Ayi Mukama owoobulamu bwonna era Nnyini bintu byonna ebirabika n’ebitalabika! Ggwe olaba amaziga gange era n'ebikkoowe ebinvaamu, era awulira okusinda kwange, era n'okwaziirana kwange, era n'okudaagana kw’omutima gwange. Ndayira ku lw’obuyinza Bwo! Ebyonoono byange binkuumidde wala ne nnemwa okusembera okumpi Naawe; era ebibi byange binkuumira wala w’embuga y’obutuukirivu Bwo. Okwagala Kwo, Ayi Mukama wange, kungaggawazza, era okwawukana ku Ggwe kunsaanyizzaawo, era okubeera ewala Naawe kunsenkenyezza. Nkwegayirira Ggwe ku lw’enswagiro Zo mu ddungu lino, era ne ku lw'ebigambo; "Nze nzuuno, Nze Nzuuno." Abalonde Bo bye boogedde mu bwaguuga buno obw’ensi, era ku lw'omukka gw’obulamu ogw'Okubikkulirwa Kwo, n'empewo empeweevu z’oku Maliiri g’Okwolesebwa Kwo, olagire nti nsobola okwekaliriza obubalagavu Bwo, n’okugondera ebyo byonna ebiri mu Kitabo Kyo.

Kati olwo alyoke addemu emirundi esatu Erinnya Erisingira ddala gonna (Alláh-u- Abhá), era akutame nga atadde ebibatu bye ku maviivi, era agambe nti:

Ettendo libe eri Ggwe, Ayi Katonda wange, kubanga ombedde okukujjukira Ggwe era n'okukutendereza Ggwe, era n’ondaga Oyo Enjuba y’Okubikkulirwa kw’obubonero Bwo, era ansobozesezza okwetoowaza mu maaso g'Obukama Bwo, era ne nneewoombeeka mu maaso g’Obwakatonda Bwo, era n’okukkiriza ekyo ekyogeddwa Olulimi olw'ekitiibwa Kyo.

Kati alyoke ayimuke era agambe nti:

Ayi Katonda, Katonda wange! Omugongo gwange gwewese olw’omugugu gw'ebibi byange, era obulagajjavu bwange bunsaanyizzaawo. Buli lwe ndowooza ku bikolwa byange ebibi era n’okusaasira Kwo, emmeeme yange esaanuukira mu nze, era n'omusaayi gwange gutokotera mu misuwa gyange. Ndayira ku lw’Obubalagavu Bwo, Ayi Ggwe Eyeegombebwa Ensi yonna! Nkwatibwa ensonyi okuyimusa amaaso gange eri Ggwe, era emikono gyange egiyaayaana giswala okwegololera eri eggulu ly’obugabirizi Bwo. Ggwe olaba, Ayi Katonda wange, engeri amaziga gange gye ganziyiza okukujjukira Ggwe era n'okutendereza empisa Zo. Ayi Ggwe Mukama wa Nnamulondo eri waggulu ennyo era n’eya wansi ku nsi! Nkwegayirira Ggwe ku lw'obubonero bw'obwakabaka Bwo era n'ebyekusifu eby'Ettwale Lyo okukola eri abaagalwa Bo nga ekisa Kyo bwe kisaana, Ayi Mukama ow’obulamu bwonna, era nga bwe kisaanidde okusaasira Kwo, Ayi Kabaka w'ebirabika n'ebitalabika.

Kati addemu nga ayatula Erinnya Erisingira ddala Obukulu (Alláh-u-Abhá) emirundi esatu, afukamire nga atadde ekyenyi kye wansi, era agambe nti:

Ettendo libe eri Ggwe, Ayi Katonda waffe, kubanga Ggwe ossizza gye tuli ekyo ekitusembeza okumpi n’eri Ggwe, era atuwa buli kirungi kyonna Ggwe ky’ossizza wansi mu Bitabo ne mu Biwandiiko Byo. Otukuume, tukwegayirira Ggwe, Ayi Mukama wange, tuleme okuwambibwa amagye g’okwegomba okw’obutaliimu n’ebirowoozo ebyamalala. Mu mazima, Ggwe Owaamaanyi, Amanyi-byonna.

Kati ayimuse omutwe gwe, era atuule wansi, era agambe nti:

Njulira, Ayi Katonda wange, eri ekyo Abalonde Bo kye bawaddeko obujulirwa, era okukkiriza ekyo abatuuse mu Lusuku olw’oku ntikko era n’abo abeetoolodde Nnamulondo Yo eyobuyinza kye bakkirizza. Obwakabaka bw'ensi n’obwo obw’eggulu bubwo Ggwe, Ayi Mukama ow’ensi zonna!

#6218
- Bahá'u'lláh

 

Eteekwa okuddibwamu buli lunaku, ku makya, mu ttuntu n’akawungeezi.

Oyo yenna ayagala okusaba, asaana anaabe engalo ze, era bw’aba anaaba, asana ayatule nti:

Owa omukono gwange amaanyi, Ayi Katonda wange, bwegutyo gusobole okuwanirira Ekitabo Kyo n’obuvumu obungi olwo nno amagye ag’ensi galeme okugunafuya. Kale nno ogukuume guleme okwemakulira ku ebyo ebitali byagwo. Ddaladdala, Gwe Ayinza-byonna, Owaamanyi Asinga-byonna.

Era bw’aba anaaba mu maaso, asaana ayatule nti:

Nkyusizza obwenyi bwange eri Ggwe, Ayi Mukama wange! Obwakize ekitangaala ky’amaaso Go. Kale nno obukuume buleme okukyukira omulala yenna wabula Ggwe.

Olwo nno asaana ayimirire, era ng’obwenyi bwe abwolekezza Qiblih (Ekifo Ekisuutibwa, nga kino kiyitibwa Bahji ‘Akká), asaana ayatule nti:

Katonda akikakasa nti teri Katonda mulala wabula Ye. Obwakabaka Bwe bw’ebwo obw’Okubikkulirwa n’obutonde. Ye, mu mazima, ayolesezza Oyo Ensibuko y’Okubikkulirwa, Oyo eyayogerera ku lusozi Sinaayi, nga mu Ye Entikko y’Eggulu mweyakaayakanira era Oyo amanyiddwa nga Omuti Omulooti ogusemberayo ddala Ayogedde, era mu Oyo okuyitibwa mwe kulangiriddwa eri abo bonna abali mu ggulu ne ku nsi nti: “Laba! Oyo Alina-byonna azze. Ensi n’eggulu, ekitiibwa n’obwakabaka bya Katonda, Mukama w’abantu bonna, era Nnannyini Nnamulondo eri waggulu ne ku nsi wansi!”

Oluvannyuma bwatyo asaana akutame nga akutte ku maviivi, era ayatule nti:

Ogulumizibwa Ggwe okusinga nze n’omulala yenna ali okumpi nange bwe tuyinza okukutendereza, era waggulu w’okunnyonnyola kwange era n’okunnyonnyola kw’abo bonna abali mu ggulu era n’abo bonna abali ku nsi.

Olwo nno, nga ayimiridde n’engalo ze nga azanjuluzza, n'ebibatu bye nga bitunudde waggulu era nga abyolekezza obwenyi bwe, asaana ayatule nti:

Ayi Katonda wange, oleme okumalamu essuubi oyo eyeerippye, n'engalo z’okwegayirira, ku mukugiro gw'okusaasira Kwo n'ekisa Kyo, Ayi Ggwe Oyo mu abo aboolesa okusaasira Ye Ggwe Omusaasizi Asinga-bonna.

Olwo asaana atuule wansi era ayatule nti:

Ndi mujulirwa eri obumu Bwo n’obwa nnamunigina Bwo, era nti Ggwe Katonda, era nti teri Katonda mulala wabula Ggwe. Ddaladdala, Ggwe obikkudde Enzikiriza Yo, otuukirizza Endagaano Yo, era oggulidde ddala oluggi lw'ekisa Kyo, eri abo bonna abatuula mu ggulu ne ku nsi. Omukisa n'emirembe, okulamusa n'ekitiibwa, bibeera ku baagalwa Bo, abo abataziyiziddwa nkyukakyuka n’ebigwawo eby’omu nsi okukyuka okudda gy’oli Ggwe, era abeeweereddeyo ddala, nga balina essuubi ery’okufuna ekyo ekiri eri Ggwe gy’oli. Mu mazima Ggwe Asonyiwa-olubeerera, Omugabi wa byonna.

#6217
- Bahá'u'lláh

 

Eteekwa okuddibwamu wakati w’ettuntu n’okugwa kw’enjuba.

Ndi mujulirwa, Ayi Katonda wange, nti Ggwe ontonze nze okukumanya Ggwe n’okukusinza Ggwe. Mu kiseera kino kyennyini, nkikakasiza ddala nti ndi munafu wabula Ggwe Oli w’amaanyi, ndi mwavu, wabula Ggwe Oli mugagga.

Teri Katonda mulala wabula Ggwe, Omuyambi mu Kabi, Eyeebeezaawo.

#6216
- Bahá'u'lláh

 

General

ABAAMI ABAFUMBO

Ayi Katonda, Katonda wange! Omuzaana Wo ono akukoowoola Ggwe, nga yeesiga Ggwe, nga akyusizza obwenyi bwe eri Ggwe, nga akwegayirira Ggwe omuyiweko emikisa Gyo emitukuvu,era n’okumubikkulira ebyama Byo ebikusike eby’omwoyo, era n’okumumulisa n’emimuli gy'Obwakatonda Bwo.

Ayi Mukama wange! Ozibule amaaso ga baze. Osanyuse Ggwe omutima gwe n'ekitangaala ky’amagezi ag'okukumanya Ggwe, osikirize Ggwe ebirowoozo bye eri obubalagavu Bwo obwakaayakana, ozzeemu Ggwe amaanyi mu mwoyo gwe, nga omubikkulire ebitiibwa Byo ebyeyolesa.

Ayi Mukama wange! Oggyewo Ggwe olutimbe olwekiise mu maaso ge. Omuyiweko Ggwe emikisa Gyo emingi, omutamiize n’envinnyo y'okukwagala Ggwe, omufuule omu ku bamalayika Bo abatambuza ebigere byabwe ku nsi eno mu kiseera kye kimu nga n’emyoyo gyabwe bwe gitumbiira nga giyita mu nsi ez’omu ggulu waggulu. Mufuule ettabaaza eyakaayakana, evaamu ekitangaala ky'amagezi Go wakati mu bantu Bo.

Ddaladdala, Ggwe Owoomuwendo, Omugabi-owoolubeerera, Owengalo Ennyanjulukufu.

#6252
- `Abdu'l-Bahá

 

ABAKYALA AB'EMBUTO

Mukama wange! Mukama wange! Nkutendereza Ggwe era nkwebaza Ggwe ku lw’ebyo Ggwe by’olagiddemu ekisa eri omuzaana Wo omuwombeefu, omuddu Wo akwegayirira n’okulaajanira Ggwe, kubanga ddaladdala Ggwe omuluŋŋamizza eri Obwakabaka Bwo obulabika era n’omusobozesa okuwulira Eddoboozi Lyo erigulumizibwa mu nsi eyomubiri era n'okulaba Obubonero Bwo obukakasa enfaanana y'obufuzi Bwo obwobuwanguzi eri ebintu byonna.

Ayi Mukama wange, mpaddeyo ekyo ekiri mu nnabaana wange eri Ggwe. Bwotyo okifuule okubeera omwana atenderezebwa mu Bwakabaka Bwo era owoomukisa ku lw’okwagala Kwo n’ekisa Kyo; okukula obulungi nga ali wansi w’okugunjulwa Kwo. Ddaladdala, Ggwe Oweekisa! Ddaladdala, Ggwe Mukama w’Ekisa Ekingi!

#6238
- `Abdu'l-Bahá

 

ABANTU BONNA

Ayi Ggwe Mukama oweekisa! Ggwe otonze abantu bonna okuva mu bbumba lye limu. Ggwe olagidde nti bonna balibeera ba mu nju emu. Mu Kubeerawo Kwo Okutukuvu bonna baddu bo, era abantu bonna babudamizibwa wansi wa Weema Yo; bonna bakuŋŋaanye wamu ku Mmeeza Yo ey'Emikisa, bonna bamulisibwa ekitangaala ky’Obugabirizi Bwo.

Ayi Katonda! Ggwe oli wa kisa eri bonna, bonna Ggwe obalabiridde, bonna obawa we basula, bonna obawa obulamu. Ggwe obawadde buli omu era bonna ebitone n’amagezi, era bonna babbidde mu Ssemayanja w’Okusaasira Kwo.

Ayi Ggwe Mukama oweekisa! Ogatte wamu bonna. Okkirize amadiini okukkiriziganya era amawanga gonna ogafuule eggwanga limu, bwegatyo gasobole okweraba nga aboolulyo olumu era n’ensi yonna nga amaka agali awamu. Okkirize bonna babeere wamu mu kukkaanya okutuukiridde.

Ayi Katonda! Owanike waggulu ebendera y’obumu bw'abantu bonna.

Ayi Katonda! Osseewo Emirembe Egisingira ddala Obulungi.

Onyweze Ggwe awamu emitima, Ayi Katonda!

Ayi Ggwe Kitaffe oweekisa, Katonda! Osanyuse emitima gyaffe nga Ogiwa obuloosa bw’okwagala Kwo. Otukuze amaaso gaffe n’Ekitangaala ky’Okuluŋŋamizibwa Kwo. Osanyuse amatu gaffe n’oluyimba oluseeneekerevu olw’Ekigambo Kyo, era Otubudamye ffenna mu Bbugwe w'Obugabirizi Bwo.

Ggwe Owoobuyinza era Owaamaanyi, Ggwe Asonyiwa era abikkirira ensobi z'abantu bonna.

#6255
- `Abdu'l-Bahá

 

Ayi Katonda! Tuli banafu; otuwe amaanyi. Tuli banaku; otuwe ku bugagga Bwo obutaggwaawo. Tuli balwadde; okkirize tufune okuwonyezebwa Kwo okutukuvu. Tuli banafu, otuwe amaanyi Go amatukuvu. Ayi Mukama! Otufuule aboomugaso mu nsi eno; otuyimbule okuva mu mbeera y'okwerowoozaako n'okwegomba. Ayi Mukama! Tunyweze mu kwagala Kwo era otusobozese okwagala abantu bonna. Otukakase mu buweereza eri abantu b'ensi, bwetutyo tusobole okufuuka abaweereza b'abaddu Bo, n’okwagala ebitonde Byo byonna era n’okulumirirwa abantu Bo bonna. Ayi Mukama! Ggwe Ayinza-byonna! Ggwe Musaasizi-wa-bonna! Ggwe Asonyiwa bonna! Ggwe Owaamaanyi gonna.

#6256
- `Abdu'l-Bahá

 

ABAVUBUKA

Ayi Mukama! Oyakaayakanye omuvubuka ono owe omukisa Gwo ekitonde kino ekinaku. Omuwe amagezi, omwongere amaanyi buli lunaku nga busaasaana era omukuumire mu kigo ky'obukuumi Bwo bwatyo asobole okwetakkuluza ku nsobi, asobole okwewaayo mu buweereza bw’Enzikiriza Yo, asobole okuluŋŋamya abo abaawaba, akulembere abanaku, anunule abawambe era agolokose abatafaayo, olwo bonna balyoke baweebwe omukisa olw’okujjukirwa n'okutenderezebwa Kwo.

Ggwe Owaamaanyi era Owoobuyinza.

#6232
- `Abdu'l-Bahá

 

ABAZADDE

Alina omukisa oyo, ajjukira bazadde be, bw’aba nga asaba Katonda we.

Ggwe olaba, Ayi Mukama, emikono gyaffe nga tugiyimusizza mu kwegayirira okwolekera eggulu ly'okusaasira n'emikisa Gyo. Kale nno okkirize gijjuzibwe ebyobugagga bwekisa ky’obugabirizi Bwo obulungi. Otusonyiwe, ne ba kitaffe, ne ba nnyaffe, era otuukirize ebyo byonna bye twegombye okuva mu ssemayanja w'okusaasira n'ekisa Kyo. Okkirize, Ayi Omwagalwa w'emitima gyaffe, emirimu gyaffe gyonna mu kkubo Lyo. Ddaladdala, Ggwe Asingira ddala Obuyinza, Asingira ddala Okugulumizibwa, Atageraageranyizika, Omu Yekka, Asonyiwa, Oweekisa.

#6266
- Bahá'u'lláh

 

Ayi Mukama! Mu Mulembe guno Ogusingira Ddala Gyonna Ggwe okkirizza abaana abato okwegayirira ku lw’abakadde baabwe. Kino kye kimu ku birabo ebyenjawulo ebitaggwaawo eby’Omulembe guno. Noolwekyo, Ayi Ggwe Mukama ow’ekisa, okkirize okusaba kw’omuddu wo ono ali ku mufuubeeto gw’obumu Bwo era onnyike kitaawe mu ssemayanja w’ekisa Kyo, kubanga omwana ono owoobulenzi agolokose okuweereza era akola obutaweera ebiseera byonna mu kkubo ly’okwagala Kwo. Ddaladdala, Ggwe Mugabi, Asonyiwa era Oweekisa.

#6267
- `Abdu'l-Bahá

 

EKIRO

Ayi Katonda wange, Mukama wange, Ekiruubirirwa ky'okwegomba kwange! Ono omuddu Wo, anoonya okwebaka mu kisiikirize ky'okusaasira Kwo, era n'okuwummulira wansi wa minvuuli y'ekisa Kyo, nga yeegayirira okulabirirwa n’obukuumi Bwo.

Nkwegayirira Ggwe, Ayi Mukama wange, ku lw'eriiso Lyo eritabongoota, okuume amaaso gange obutatunuulira kirala kyonna wabula Ggwe. Kale nno, oyogiwaze okulaba kwago gasobole okwekaliriza obubonero Bwo, era n'okulaba Obugazi bw'Okubikkulirwa Kwo. Ggwe y’Oyo mu maaso g’okubikkulirwa kw’amaanyi Go gonna ennono y’obuyinza eyuuguumiziddwa.

Teri Katonda okuggyako Ggwe, Ayinza-byonna, Awangula-byonna, Ataliiko-kkomo.

#6263
- Bahá'u'lláh

 

Nyinza ntya okusalawo okwebaka, Ayi Katonda, Katonda wange, nga ate amaaso gaabo abakuyaayaanira Ggwe tegalina tulo kubanga tegakyakulaba Ggwe; era nnyinza ntya okugalamira mpummule nga emyoyo gy'abaagalwa Bo girumwa obugigi kubanga giri wala okuva Ggwe wooli?

Ayi Mukama wange, ntadde omwoyo gwange, n'obulamu bwange bwonna mu mukono ogwa ddyo ogwamaanyi Go n’obukuumi Bwo, era ŋŋanzika omutwe gwange ku mutto ku lw'obuyinza Bwo era ne nguyimusa olwokwagala n’okusiima Kwo. Mu mazima, Ggwe Mukuumi, Alabirira, Ayinza-byonna, Asingira ddala amaanyi.

Ndayira ku lw'obuyinza Bwo! Mbeere mu tulo oba nga nzuukuse, sisaba kirala okuggyako ekyo Ggwe ky'oyagala. Nze ndi muddu Wo, era ndi mu mikono Gyo. Ombeere Ggwe n’ekisa okukola ekyo ekinaabunyisa akaloosa k'obulungi Bwo. Mu mazima, lino ly’essuubi lyange era essuubi ly’abo abasanyukira okukulinaana Ggwe. Ettendo libe eri Ggwe, Ayi Mukama ow'ensi zonna!

#6264
- Bahá'u'lláh

 

ESSAALA Z'ABAANA N'ABAVUBUKA

Otenderezebwe Ggwe, Ayi Mukama Katonda wange! Ku lw'ekisa Kyo okkirize omuwere ono ayonsebwe okuva ku bbeere ly’okusaasira Kwo okuboolerevu era akuzibwe nga aliisibwa n’ekibala ky'emiti Gyo egy’omu ggulu. Tomuganya kwewaayo akuumibwe omulala yenna wabula Ggwe, kubanga ddala Ggwe, Mwene, mu buyinza bw’okwagala Kwo okw’obwannamunigina wamutonda era n’okumuwa obulamu. Tewali Katonda mulala wabula Ggwe, Ayinza-byonna, Amanyi-byonna.

Oweebwe Ekitiibwa, Ayi Muganzi wange; omufuuweko obuwoowo obulungi obw'ekisa Kyo ekitenkanika, era n'obuloosa bw’ebirabo byo ebitukuvu. Bwotyo omusobozese okunoonya obubudamo wansi w'ekisiikirize ky'Erinnya Lyo Erisinga Okugulumizibwa, Ayi Ggwe awaniridde mu ngalo Zo obwakabaka bw’amannya n’obubonero. Ddaladdala, Ggwe olina obuyinza okukola ekyo Ggwe ky’oyagala, era mu mazima, Ggwe Owoobuyinza, Agulumizibwa, Asonyiwa-ennaku zonna, Oweekisa, Omugabi, Omusaasizi.

#6224
- Bahá'u'lláh

 

Ayi Ggwe Mukama asingira ddala ekitiibwa! Ofuule omuzaana Wo ono omuto owoomukisa era omusanyufu; omufuule ayagalwa era asuusuutibwa ku mufuubeeto gw’obumu Bwo, era omukkirize okulega ku kikompe Kyo eky’okwagala bwatyo asobole okujjuzibwa ekinyegenyege n’okuwuniikirira era abunyise akaloosa akalungi ennyo.

Ggwe Owaamaanyi era Owoobuyinza, era Ggwe Amanyi-byonna, Liisoddene.

#6225
- Bahá'u'lláh

 

Ayi Ggwe Mukama atageraageranyizika! Okkirize omwana ono ayonka akuzibwe ku bbeere ly'ekisa ky'okwagala Kwo, omukuumire mu kibaya ky’emirembe n'obukuumi Bwo era okkirize akuzibwe mu mikono gy’omukwano Gwo omuboolerevu.

#6226
- `Abdu'l-Bahá

 

Ayi Katonda! Olere akawere kano mu kifuba ky’okwagala Kwo, era okawe amata agava mu bbeere ly'obugabirizi Bwo. Olabirire ekimera kino ekito mu nnimiro y'ebimuli bya looza ey'okwagala Kwo era okibeere kikule nga kifukirirwa omukisa Gwo.

#6227
- `Abdu'l-Bahá

 

Ayi Katonda! Ogunjule abaana bano abato. Abaana bano abato by’ebimera eby’omu nnimiro Yo, ebimuli eby'omu ttale Lyo, ebimuli bya looza eby’omu nnimiro Yo. Okkirize enkuba Yo ebifukirire; okkirize Enjuba ey’Amazima ebaakire n’okwagala Kwo.

Okkirize empewo Yo ebazzeemu amaanyi bwebatyo basobole okubangulwa, bakule era bakulaakalune, era balabikire mu bubalagavu obusingira ddala. Ggwe Mugabi! Ggwe Alumirirwa-bonna.

#6229
- `Abdu'l-Bahá

 

Ayi Ggwe Mukama ow'ekisa! Abaana bano abato abalungi gye mirimu gy’engalo z’amaanyi Go, n’obubonero bwekitalo obwobukulu Bwo.

Ayi Katonda! Okuume abaana bano abato, n’ekisa Kyo, obayambe bagunjulwe era obawe obusobozi bw’okuweereza abantu bonna mu nsi yonna. Ayi Katonda! Abaana bano abato maluulu, obakkirize okukuzibwa munda w’essonko ly'ekisa ky'okwagala Kwo.

Ggwe Mugabirizi, Ayagala-byonna.

#6230
- `Abdu'l-Bahá

 

Ayi Katonda, onnuŋŋamye, onkuume, onfuule ettaala eyaka era emmunyeenye etangalijja. Ggwe Owaamaanyi, era Owoobuyinza.

#6228
- `Abdu'l-Bahá

 

Ayi Mukama wange! Ayi Mukama wange! Ndi mwana ow'emyaka emito. Onnyonseze ku bbeere ly'okusaasira Kwo, ontendekere mu kifuba ky'okwagala Kwo, oŋŋunjulire mu ssomero ly'okuluŋŋamizibwa Kwo era onkulize wansi w'ekisiikirize ky'omukisa Gwo. Onnunule okuva mu kizikiza, onfuule ekitangaala ekyamaanyi; onsumulule okuva mu buyinike, onfuule ekimuli eky'omu nnimiro y’ebimuli bya looza; onzikirize nfuuke omuddu w’omufuubeeto Gwo era onnaanike empisa n’embeera ey’abatuukirivu; onfuule ensulo y’omukisa eri abantu b’omu nsi bonna era otikke ku mutwe gwange engule ey'obulamu obutaggwaawo.

Ddaladdala Ggwe Owoobuyinza, Owaamaanyi, Liisoddene, Awulira.

#6231
- `Abdu'l-Bahá

 

ESSANYU N’OKUTEBENKERA

Ayi Katonda! Ozze obuggya era osanyuse emmeeme yange. Otukuze omutima gwange. Omulise amaanyi gange. Ntadde ensonga zange zonna mu mikono Gyo. Ggwe Muluŋŋamya wange era Ekiddukiro kyange. Siriddayo kunakuwala n’okwekubagiza; Naabeeranga omusanyufu era eyeesiima. Ayi Katonda! Siriwankawanka nate, wadde okukkiriza emitawaana okummalako emirembe. Siryemaliranga ku bintu by’ensi ebitasanyusa.

Ayi Katonda! Ggwe Oli mukwano gwange nnyo okusinga nze bwe nneeyagala. Neewaddeyo eri Ggwe, Ayi Mukama.

#6278
- `Abdu'l-Bahá

 

Ayi Mukama! Tuli banafu; otuwe amaanyi. Ayi Katonda! Tetulina kye tumanyi; otufuule abamanyi. Ayi Mukama, tuli bankuseere; otufuule abagagga. Ayi Katonda! Tuli bafu, otuzzeemu obulamu. Ayi Katonda! Tuli buswavu bwennyini; otufuule abeekitiibwa mu bwakabaka Bwo. Singa Ggwe otubeera, Ayi Mukama tunaafuukanga emmunyeenye ezitemagana. Singa totubeera, tujja kubeera ba wansi nnyo n'okusinga ettaka. Ayi Mukama! Otuwe amaanyi. Ayi Katonda! Otuwe obuwanguzi. Ayi Katonda! Otusobozese okuwangula okwefaako ffe beene era n’okufuga okwegomba. Ayi Mukama! Otununule mu njegere z'ensi eyokwegomba. Ayi Mukama! Otuzzeemu obulamu ng’oyita mu mpewo y'Omwoyo Omutukuvu bwetutyo tusobole okugolokoka okukuweereza Ggwe, twenyigire mu kukusinza Ggwe era n’okweweerayo ddala mu Bwakabaka Bwo mu bwesimbu obwannamaddala.

Ayi Mukama, Ggwe Owoobuyinza. Ayi Katonda, Ggwe Asonyiwa. Ayi Mukama, Ggwe Alumirirwa.

#6279
- `Abdu'l-Bahá

 

Ayi Katonda, Katonda wange! Ggwe Ssuubi lyange era Omwagalwa wange, Ekiruubiriwa kyange era n’Okwegomba kwange ebisingira ddala! Mu bwetoowaze obungi ennyo nkusaba Ggwe onfuule omunaala gw'okwagala Kwo mu nsi Yo, ettabaaza y'amagezi Go wakati mu bitonde Byo, bendera y'omukisa omutukuvu mu Bwakabaka Bwo. Ombalire mu baddu Bo abeeresezza ebirala byonna okuggyako Ggwe, abeetukuzza ne bava ku bintu eby'ensi eno, era ne beesumulula okuva ku kupikiriza kw’amaloboozi gaboogera eby’obutaliimu nsa. Okkirize omutima gwange gubugaane essanyu nga oyita mu mwoyo gw'okukakasibwa okuva mu bwakabaka Bwo, Otukuze amaaso gange nga bwe galaba amagye ag’obuyambi obutukuvu nga gakkirira ku nze obutasalako okuva mu bwakabaka obw'ekitiibwa ekyamaanyi gonna.

Mu mazima, Ggwe Ayinza-byonna, Oweekitiibwa-kyonna, Owoobuyinza-bwonna.

#6280
- `Abdu'l-Bahá

 

Ayi Mukama wange, Omwagalwa wange, Okwegomba kwange! Onfuule mukwano Gwo mu kuwuubaala kwange era omperekere mu kuwaŋŋangusibwa kwange. Oggyewo okunakuwala kwange. Onsobozese okwewaayo eri obubalagavu Bwo. Onzijulule ku birala byonna wabula Ggwe. Onsikirize nga oyita mu buloosa Bwo obwobutuukirivu. Onsobozese okutabagana mu Bwakabaka Bwo n'abo abeekutulidde ddala okuva ku birala byonna wabula Ggwe, abayaayaanira okuweereza ku mufuubeeto Gwo omutukuvu, era abayimiriddewo okukola mu Nzikiriza Yo. Onsobozese mbeere omu ku bazaana Bo abatuuse mu kusiimibwa Kwo okulungi. Ddaladdala, Ggwe Oweekisa, Omugabirizi.

#6281
- `Abdu'l-Bahá

 

NKUGAANA

Ayi Katonda! Ddala ddala tukunganidde wano mu kawoowo k'okwagala Kwo. Tukyukidde eri obwa Kabaka Bwo. Tewali kirala kyetunoonya, wabula Ggwe, era tetwetaaga kirala kyonna wabula obulungi Bwo. Ofuule emmere eno okuba maanu ava mu ggulu, era oyambe abantu bano abakungaanye, okuba nga abagalwa Bo abomu ggulu. Bafuule ensibuko y'okwagala Kwo, eri oluse lw'abantu. Bafuule emikutu gyoyitamu okulungamya ensi. Ddala ddala Ggwe Oli wamaanyi, Ggwe Oli mugabi, Ggwe Olimusonyi, Ggwe Ayinza byonna.

#6259
- `Abdu'l-Bahá

 

Ayi Mukama! Onyweze era oyambe olukuŋŋaana luno. Onyweze emyoyo gino nga oyita mu mpewo z’Omwoyo Gwo Omutukuvu. Ozigule amaaso n’okwolesebwa kw’emimuli egyakaayakana, era osanyuse amatu nga oyita mu nnyimba z’okukoowoola eri obuweereza.

Ayi Katonda! Ddaladdala, tukuŋŋaanidde wano mu kawoowo k’okwagala Kwo. Tukyukidde eri Obwakabaka Bwo. Tetunoonya kirala wabula Ggwe era tetulina kye twegomba wabula obulungi bw’okusiima Kwo.

Ayi Katonda! Okkirize emmere eno ebeere emmaanu eva mu ggulu, era okkirize olukuŋŋaana luno lubeere eggye ly’abatukuvu Bo ab’oku ntikko. Obayambe babeere ensibuko y’okuzuukizibwa kw’okwagala eri abantu bonna era ensibuko y’ekitangaala eri olulyo lw’abantu. Obayambe babeere emikutu gy’okuluŋŋamizibwa ku nsi.

Ddaladdala, Ggwe Owaamaanyi. Ggwe Lugaba. Ggwe Asonyiwa, era Ggwe Ayinza-byonna.

#6258
- `Abdu'l-Bahá

 

Ayi Omukuumi Omutukuvu! Olukuŋŋaana luno lwetabyemu mikwano Gyo abasikirizibwa obubalagavu Bwo era abakoleezeddwako omuliro gw’okwagala Kwo. Ofuule abantu bano bamalayika abatukuvu, obazze engulu nga obafuuwamu omukka ogw’Omwoyo Gwo Omutukuvu, obawe ennimi ezisendasenda n’emitima emigumu, obawe amaanyi amatukuvu n’okufaayo okw’obusaasizi, obasobozese okufuuka abalangirizi b’obumu bw’abantu bonna era ensibuko y’okwagala n’okusseekimu mu nsi y’abantu, bwekityo ekizikiza ekyakabi eky’okwekubiira kw’obutamanya kiryoke kibulire mu kitangaala ky’Enjuba y’Amazima, ensi eno ey’ekibululu eryoke eyakaayakane, ensi eno eyomubiri eryoke enyuunyunte ekitangaala ky’ensi y’omwoyo, langi zino ezenjawulo zisobole okwegatta awamu mu langi emu era n’oluyimba lw’okutendereza lusobole okulinnyalinnya lutuuke mu bwakabaka bw’obutuukirivu Bwo.

Ddaladdala, Ggwe Owaamaanyi-gonna, era Ayinza-byonna!

#6260
- `Abdu'l-Bahá

 

OBUDDE OBWOKUMAKYA

Ayi Katonda wange era Mukama wange! Nze ndi muddu Wo era mutabani w'omuddu Wo. Ngolokose okuva ku kiriri ku matulutulu gano nga Omusana gw'obumu Bwo guvuddeyo okuva ku Nsibuko y'Okwagala Kwo, era ekitangaala kyagwo ne kibuna ensi yonna, nga bwe kyalagirwa mu Bitabo by’Etteeka Lyo.

Ettendo libe eri Ggwe, Ayi Katonda wange, kubanga tugolokokedde mu bitiibwa by’ekitangaala ky’amagezi Go. Kale nno, Ayi Mukama, osse ku ffe ekyo ekinaatusobozesa okwesamba buli mulala yenna okuggyako Ggwe, era n'okwetakkuluza ku bitusiba byonna wabula ku Ggwe wennyini. Nate era, ompandiikire era n'abo abomuwendo eri nze, era n'abooluganda lwange, abasajja n'abakazi, ebirungi ebyensi eno, n'eyo egenda okujja. Kale nno, otukuume, nga oyita mu bukuumi Bwo obutalemererwa, Ayi Ggwe Omwagalwa w'ebitonde byonna era Eyeegombebwa ow’ensi yonna, eri abo Ggwe b’ofudde okubeera okwolesebwa Omukubi w’Akaama Omubi, akuba obwama obubi mu bifuba by'abantu. Ggwe olina obuyinza okukola nga Ggwe bw'oyagala. Ddaladdala, Ggwe Ayinza-byonna, Omuyambi mu Kabi, Eyeebeezaawo.

Omuwe omukisa, Ayi Mukama Katonda wange, Oyo Ggwe gw’owadde Amannya g’Ebitiibwa agasinga obusukkulumu, era nga oyita mu Bo n’oyawula wakati w'abalungi n'aboonoonyi, era ku lw'ekisa otubeere tukole ebyo by’oyagala ne bye weegomba. Nate era, Ayi Katonda wange, obawe Ggwe omukisa, abo aboolesa Ebigambo Byo n'Ennukuta Zo, era n’abo aboolekezza obwanga bwabwe eri Ggwe, era ne bakyukira amaaso Go, era ne bawuliriza Okukoowoola Kwo.

Mu mazima, Ggwe Mukama era Kabaka w'abantu bonna, era omuyinza w’ebintu byonna.

#6261
- Bahá'u'lláh

 

Ngolokokedde mu kisiikirize Kyo, Ayi Katonda wange, era kimugwanidde oyo anoonya ekisiikirize ekyo okunywerera mu Kiddukiro ky’obukuumi Bwo era Bbugwe Wo owokwerinda. Omulise obulamu bwange obwomunda, Ayi Mukama wange, n'ebitiibwa by’Ensibuko y'Okubikkulirwa Kwo, kale nga Ggwe bwomulisiza obulamu bwange obwokungulu n’ekitangaala eky’oku makya eky'okusiima Kwo.

#6262
- Bahá'u'lláh

 

OBUFUMBO

Mu kusuubizagana okw’obufumbo, olunyiriri olw’okwatulwa omugole omukazi n'omugole omusajja buli omu ku lulwe mu maaso g’abajulizi waakiri babiri abakkirizibbwa Olukiiko lw’Omwoyo kuli nga bwe kulambikiddwa mu Kitáb-i-Aqdas (Kitabo Ekisingira Ddala Obutukuvu) nti:

“Ddaladdala, fenna,

tunaagonderanga Okugera kwa Katonda."

Ekitiibwa kibe eri Ggwe, Ayi Katonda wange! Ddaladdala, omuddu Wo ono era n’omuzaana Wo ono, bakuŋŋaanidde wansi w'ekisiikirize ky'okusaasira Kwo era bali bumu ku lw’okwagala Kwo n'ekisa Kyo. Ayi Mukama! Obabeere mu nsi Yo eno era ne mu bwakabaka Bwo era obategekere buli kirungi nga oyita mu bugabirizi Bwo n’ekisa Kyo. Ayi Mukama! Obanyweze mu buddu Bwo era obabeere mu buweereza Bwo. Obakkirize bafuuke obubonero bw'Erinnya Lyo mu nsi Yo, era obakuume nga oyita mu birabo Byo ebitaggwaawo, mu nsi eno ne mu nsi egenda okujja. Ayi Mukama! Basaba obwakabaka bw'okusaasira Kwo wamu n’okwegayirira obwakabaka Bwo obw’obwannamunigina. Ddaladdala, bagattiddwa wamu nga bagondera etteeka Lyo. Basobozese okufuuka obubonero obwokukkaanya n'obumu okutuusa ku kiseera ekisembayo.

Ddaladdala, Ggwe Owaamaanyi-gonna, Abeera-wonna, Ayinza-byonna.

#6257
- `Abdu'l-Bahá

 

OBUKUUMI

Erinnya Lyo litenderezebwe, Ayi Mukama Katonda wange! Nkwegayirira Ggwe ku lw’Erinnya Lyo nga Essaawa mw’etuukidde, era n’Okuzuukira mwe kwabeererawo, era okutya n’okukankana mwe kwazingiza abo bonna abali mu ggulu na bonna abali ku nsi, otonnyese, okuva mu ggulu ly’okusaasira Kwo ne mu bire by’okulumirirwa Kwo okwekitalo, ebyo ebinaasanyusa emitima gy’abaddu Bo, abakyuse okudda eri Ggwe era ne bayamba Enzikiriza Yo.

Okuume bulungi abaddu Bo n’abazaana Bo, Ayi Mukama wange, bawone obusaale bw’ebirowoozo by’obutaliimu n’okwerowoozaako, era obawe okuva mu ngalo z’ekisa Kyo omumiro gw’amazzi agakulukuta empola ag’amagezi Go.

Mu mazima, Ggwe Ayinza-byonna, Asingira ddala Okugulumizibwa, Asonyiwa-bulijjo, Asingira ddala Obugabi.

#6270
- Bahá'u'lláh

 

Ye ye Katonda! Ayi Mukama Katonda wange! Ayi Ggwe Omuyambi w’abanafu, Omubeezi w’abanaku era Omununuzi w’abatalina mwasirizi abakyukira Ggwe.

Mu bwetoowaze obusingira ddala nnyimusa emikono gyange mu kwegayirira eri obwakabaka Bwo obulungi era n’olulimi lwange olwomunda, nga njatula nti: Ayi Katonda, Katonda wange! Ombeere okukusuuta Ggwe, onyweze ekimyu kyange nsobole okukuweereza Ggwe; ombeere ku lw’ekisa Kyo mu buddu bwange eri Ggwe; onsobozese obutasagaasagana mu kukugondera Ggwe; ombunduguleko emikisa Gyo emingi, okkirize okusuuliza kw’eriiso ly’ekisa ky’okwagala Kwo kwolekere eri nze, era onyinnyike mu ssemayanja y’okusonyibwa Kwo. Okkirize nsobole okukakasibwa mu kunywerera ku Nzikiriza Yo, era ompe ekigero kyange mu bungi obusingako eky’obukakafu n’obuvumu, bwentyo nsobole okuviira ddala ku by’ensi, era nga neeweereddeyo ddala nsobole okukyusa obwanga bwange bwolekere amaaso Go ag'okwagala n'ekisa, gantunuulire, era onnyinyike mu ssemayanja y'okusonyiwa Kwo. Nnyamba okunywera mu Nzikiriza yo. Era ompe ekigera ekijjuvu. Ekitabuusibwabuusibwa Onkakase neggye ku by'ensi era ebirowoozo byange byonna mbimalire ku Ggwe, nnywezebwe amaanyi ageekitalo ag’obukakafu n’obujulizi, era, nga nzijuziddwa ekitiibwa n’obuyinza, ndyoke mbuuke ensalo eza buli kitundu ky’eggulu n’ensi. Ddaladdala, Ggwe Omusaasizi, Oweekitiibwa, Oweekisa, Alumirirwa.

Ayi Mukama! Bano be bamulekwa baabajulizi, ekibiina ky’abantu abo abaaweebwa omukisa. Bagumidde buli kibonoobono era ne boolesa obugumiikiriza mu mbeera y’obutali bwenkanya obususse. Baleseewo obulamu obulungi n’obugagga, beewaddeyo, nga beeyagalidde, mu kubonaabona okungi n’obuyinike mu kkubo ly’okwagala Kwo, era bakyakuumiddwa mu buwambe mu njala z’abalabe baabwe abababonyaabonya obutakoma n’ebibonoobono ebikakali, n’okubanyigiriza kubanga batambula nga bavumu mu kkubo Lyo eggolokofu. Teri n’omu abayamba, wadde n’omu okubakwana. Nga oggyeko abakopi n’ababi, teri n’omu akolagana wadde okubeera nabo.

Ayi Mukama! Abantu bano bamaze okulega ku bulumi obungi mu bulamu buno obw’ensi era, nga akabonero ak’okwagalwa kwabwe eri okwakaayakana kw’obubalagavu bw’amaaso Go era ne mu kwesunga kwabwe okutuuka mu bwakabaka Bwo obw’omu ggulu, bagumiikirizza buli kujoogebwa okwennyinyalwa ba nnaakyemalira Kwe babatuusizzaako.

Ayi Mukama! Ojjuze amatu gaabwe n’ennyiriri z’okubeerwa okutukuvu era n’obuwanguzi obwamangu, era obanunule okuva mu kunyigirizibwa kw’abo abakozesa obuyinza mu bukambwe. Okugire emikono gy’ababi era oleme okuleka abantu bano okutaagulwataagulwa enjala n’amannyo g’ensolo enkambwe, kubanga basibiddwa okwagala kwabwe eri Ggwe, ne bakwasibwa obuvunaanyizibwa bw’okukuuma ebyama ebikusike ebyobutukuvu Bwo, okuyimirira n’obuwombeefu ku mulyango Gwo era ne batuuka mu mbuga Yo egulumizibwa.

Ayi Mukama! Ku lwekisa obanyweze n’omwoyo omuggya; omulise amaaso gaabwe nga obasobozesa okulaba obubonero Bwo obw’ekitalo mu kibululu eky’ekiro; obagerekere ebirungi byonna ebisaasaanidde mu bwakabaka Bwo obw’ebyama ebikusike ebyolubeerera; obafuule emmunyeenye entwakaavu ezaakaayakana waggulu w’ebitundu, nga emiti emigimu egijjudde ebibala era egyenyeenyeza mu mpewo ezookumaliiri.

Ddaladdala, Ggwe Mugabirizi, Owoobuyinza, Owaamaanyi-gonna, Atakugirwa. Teri Katonda mulala okuggyako Ggwe, Katonda ow’okwagala n’obusaasizi obungi, Oweekitiibwa-kyonna, Asonyiwa-Bulijjo.

#6272
- `Abdu'l-Bahá

 

Ayi Katonda, Katonda wange! Siikiriza abaddu bo eri ebibi by’okwelowoozaako n'okwegomba, obakuume n'eriiso eritatemya ery'okwagala kw’ekisa Kyo baleme okubeera n’ettima, obukyayi n'obuggya, obabudamye mu bbugwe atamenyebwa ow’okulabirirwa Kwo era, obataase baleme okukubibwa obusaale obw'okubuusabuusa, obafuule okwolesebwa kw’obubonero Bwo obw'ekitiibwa, oyakaayakanye obwenyi bwabwe n'ekitangaala ekiva ku Njuba y'obumu Bwo obutukuvu, osanyuse emitima gyabwe n'ennyiriri ezibikkuddwa okuva mu bwakabaka obutukuvu, onyweze ebimyu byabwe n'amaanyi Go agayuuguumya-byonna agava mu bwakabaka Bwo obwekitiibwa.

Ggwe Oli Mugabirizi-wa-byonna, Omukuumi, Ayinza-byonna, Oweekisa.

#6273
- `Abdu'l-Bahá

 

Ye y’Alumirirwa, Omugabirizi-wa-byonna! Ayi Katonda, Katonda wange! Ggwe ondaba, Ggwe ommanyi; Ggwe Kiddukiro kyange era Obubudamo bwange.

Teri n'omu gwe nnoonyezza wadde gwe naanoonya wabula Ggwe; teri kkubo lyonna lye nnali ntambuliddemu wadde lye naatambuliramu okuggyako ekkubo ery'okwagala Kwo. Mu kazigizigi w’ekiro ky'okuggwaamu essuubi, eriiso lyange likyukira mu kusuubira era nga lijjudde essuubi ly’olunaku olupya olw’emikisa Gyo egitakoma era ku ssaawa eyamaliiri omwoyo gwange ogukooye guzziddwamu amaanyi mu kujjukira obubalagavu Bwo n'obutuukirivu Bwo. Oyo abeerwa ekisa ky’okusaasirwa Kwo, newaakubadde yenkana ettondo, alifuuka ssemayanja atalina kkomo, era n’akaweke obuweka akasirikitu akayambibwa ensulo z’ekisa ky'okwagala Kwo, kanaayakaayakana nga emmunyenye entwakaavu.

Obudamye wansi w’obukuumi Bwo, Ayi Ggwe Omwoyo gw’obutukuvu, Ggwe Omugabi w'Emikisa-gyonna, omuddu Wo ono gw’owambye era gw’okoleezezzakko omuliro. Omubeere mu nsi eno ey'obulamu aleme okusagaasagana era omunywevu mu kwagala Kwo era okkirize ekinyonyi kino ekimenyese ekiwaawaatiro okutuuka mu bubudamo n'obuddukiro mu kisu Kyo ekitukuvu ekiri ku muti ogw’omu ggulu.

#6274
- `Abdu'l-Bahá

 

Ayi Ggwe Lugaba omutukuvu, tuli banaku, otuwe obuyambi Bwo; emmomboze, otuwe obubudamo Bwo; tusaasaanyiziddwa, otukuŋŋaanye wamu mu kisibo Kyo; tetulina kantu konna, otuwe Ggwe omugabo n’omutemwa; tuli bayonta, otukulembere tutuuke ku nsulo z’omugga ogw’Obulamu; tuli banafu, otuwe amaanyi bwetutyo tusobole okugolokoka okuyamba Enzikiriza Yo era n’okwewaayo tweweeyo nga ssaddaka ennamu mu kkubo ly’okuluŋŋamizibwa.

#6271
- `Abdu'l-Bahá

 

OBWETTUMBI

Ayi Mukama, nkyusizza obwenyi bwange okwolekera obwakabaka obw'obumu Bwo era nennyise mu nnyanja y'okusaasira Kwo. Ayi Mukama, okkirize amaaso gange okulaba ettabaaza Zo mu kizikiza ky’ekiro kino, era onsanyuse n'envinnyo y’okwagala Kwo mu mulembe guno ogwekitalo. Ayi Mukama, onzikirize okuwulira okukoowoola Kwo, era onzigulire mu maaso gange enzigi z’eggulu Lyo, bwentyo nsobole okulaba ekitangaala ky’ekitiibwa Kyo era nsikirizibwe obubalagavu Bwo. Ddaladdala, Ggwe Lugaba, Omugabirizi, Omusaasizi, Asonyiwa.

#6265
- `Abdu'l-Bahá

 

OKUBEERWA

Ayi Katonda wange! Nkusaba, ku lw'erinnya Lyo erisingira ddala ekitiibwa, ombeere mu ebyo ebinaayamba emirimu gy'abaddu Bo okukulaakulana, era n'ebibuga Byo okutinta. Mu mazima ddala, Ggwe Olina obuyinza ku bintu byonna.

#6219
- Bahá'u'lláh

 

Waliwo Omujjuluzi w’ebizibu yenna okuggyako Katonda? Yatula: Katonda atenderezebwe! Ye ye Katonda! Bonna baddu Be, era bonna bagondera okulagira Kwe!

#6220
- The Báb

 

Yatula: Katonda amala mu buli kimu okusinga ebintu byonna, era tewali kintu kyonna mu bwengula ne ku nsi ekigasa okuggyako Katonda. Ddaladdala, Ye mu Ye Mwene ye Mumanyi-yekka, Atubeezaawo, Omuyinza-wa-byonna.

#6221
- The Báb

 

Mukama! Tuli abanyoomebwa, otuwe ekisa Kyo; tuli baavu, otuwe omugabo okuva ku ssemayanja w'obugagga Bwo; abali mu bwetaavu, otuwe bye twetaaga; abajolongwa, otuwe ekitiibwa Kyo. Ebinyonyi eby'omu bbanga n'ensolo ez'omu ttale, zifuna emmere yaazo buli lunaku okuva eri Ggwe, era n’ebiramu byonna bigabana ku bulabirizi Bwo n'ekisa ky'okwagala Kwo.

Omunafu ono tomumma kisa Kyo ekyekitalo era n’obuyinza Bwo owe kateeyamba ono omukisa Gwo.

Otuwe emmere yaffe eya buli lunaku, era okkirize okutwongera obusobozi bw’okufuna ebyetaago by’obulamu, bwetutyo tulyoke tuleme okwesigama ku mulala yenna wabula Ggwe, tunyumyenga Naawe mu bujjuvu, tusobole okutambulira mu makubo Go n’okulangirira ebikusike Byo. Ggwe Ayinza-byonna era Atwagala era Omugabirizi w'abantu bonna.

#6222
- `Abdu'l-Bahá

 

Ayi Mukama, Katonda wange! Oyambe abagaalwa Bo okunywerera mu Nzikiriza Yo; batambulire mu makubo Go; baleme okusagaasagana mu Nzikiriza Yo. Obawe ekisa Kyo basobole okulwanyisa obulumbaganyi bw’omulabe obw’okwerowoozaako n’okwegomba okubi, bagoberere ekitangaala eky’Okuluŋŋamizibwa Okutukuvu. Ggwe Owaamanyi, Oweekisa, Eyeebeezaawo, Omugabi, Omusaasizi, Ayinza-byonna, Agabirira-byonna.

#6223
- `Abdu'l-Bahá

 

OKUGEZESEBWA N'EBIZIBU

Omalewo obuyinike bwange olw'ekisa Kyo n'obugabi Bwo, Ayi Katonda, Katonda wange, era ogobere wala okunyolwa kwange nga oyita mu maanyi Go n’obuyinza Bwo. Ayi Katonda wange, ondaba Ggwe nga amaaso gange ngatunuzza eri Ggwe mu kiseera obuyinike we bunneetoololedde ku buli ludda. Nkwegayirira Ggwe, Ayi Ggwe Mukama w’obulamu bwonna, era amaamidde ebintu byonna ebirabika n'ebitalabika, ku lw'Erinnya Lyo mw’owangulidde emitima n'emyoyo gy'abantu, era ne ku lw'amayengo ga Ssemayanja w'okusaasira Kwo era n'ebirungi by'Enjuba y'ekisa Kyo, ombalire mu abo abatalina kyonna ekiyinza okubaziyiza okukyusa amaaso gaabwe bakwekalirize Ggwe, Ayi Ggwe Mukama ow'amannya gonna era Omutonzi w’ensi zonna.

Ayi Mukama wange, Ggwe olabira ddala ebintu ebintuseeko mu nnaku Zo. Nkwegayirira ku lw'Oyo Ensibuko y'amannya Go era Emmambya y’obubonero Bwo, ongerekere ekyo ekinansobozesa okugolokoka okukuweereza Ggwe era n'okutendereza empisa Zo. Ddaladdala Ggwe Ayinza-byonna, Owaamaanyi Asingira ddala, Oyo Omwetegefu okuddamu essaala z'abantu bonna!

Era, n’ekisembayo nkwegayirira Ggwe ku lw'ekitangaala ky'obwenyi Bwo owe emirimu gyange omukisa, era n’okusasula amabanja gange, n’okumpa ebyo bye nneetaaga. Ggwe y’Oyo Owoobwakabaka buli lulimi gwe buwaddeko obujulirwa, n’ekitiibwa Kye n'obuyinza Bwe buli mutima omutegeevu gwe gukakasizza. Teri Katonda okuggyako Ggwe, Oyo awulira era Omwetegefu okwanukula.

#6287
- Bahá'u'lláh

 

Nkulaajanira Ggwe ku lw’obuyinza Bwo, Ayi Katonda wange! Oleme okukkiriza akabi konna okuntuukako mu biseera eby’okugezesebwa, era ne mu biseera eby’obutafaayo luŋŋamya bulungi ebigere byange nga oyita mu kuluŋŋamizibwa Kwo. Ggwe Katonda, Ggwe Owaamaanyi okukola kyonna Ggwe ky’oyagala. Teri n’omu ayinza okuziyiza Ekyo Ggwe ky’Oyagala kibeere oba okuziyiza Ekigendererwa Kyo.

#6288
- The Báb

 

Ayi Mukama! Ggwe Mujjuluzi wa buli buyinike era Omgobi wa buli kubonaabona kwonna. Ye Ggwe Oyo agoba buli buyinike era anunula buli muddu, Omununuzi wa buli muntu. Ayi Mukama! Ondokole nga oyita mu kusaasira Kwo era ombalire wakati mu baddu Bo nga abo abalokoleddwa.

#6289
- The Báb

 

OKUNYWERERA MU NDAGAANO

Twegayirire Katonda, ku lw'ekisa Kye, ababeere abo ababuziddwabuziddwa babeere abenkanya era abeesimbu, era n’okubamanyisa ebyo bye babadde balagajjalira. Ye, mu mazima, Ye Lugaba, Omugabi, Asinga-bonna. Oleme okugoba abaddu Bo, Ayi Mukama wange, okuva ku mulyango gw'ekisa Kyo, era oleme okubagoba okuva mu mbuga y’okubeerawo Kwo. Obabeere baggyewo olufu olw'endowooza ezitaliimu, era bayuzeeyuze zi taamusiiya z’ebirowoozo n’esuubi eritaliimu nsa. Ddaladdala, Ggwe Alina-Byonna, Ali Waggulu-ennyo. Teri Katonda wabula Ggwe, Ayinza-byonna, Oweekisa.

#6241
- Bahá'u'lláh

 

Onyweze ebigere byaffe, Ayi Mukuma, mu kkubo Lyo, era Ogumye emitima gyaffe mu kukugondera Ggwe. Okyuse amaaso gaffe eri obubalagavu bw'obumu Bwo, era osanyuse emmeeme zaffe n'obubonero obwa nnamunigina Bwo obutukuvu. Oyambaze emibiri gyaffe n'ekyambalo ky’ekirabo Kyo, era oggye ku maaso gaffe olutimbe lw’obwonoonefu, era otuwe ekikompe ky'ekisa Kyo; bwetyo ennono y'ebiramu byonna eyimbe ettendo Lyo mu maaso g'okulabika kw’ekitiibwa Kyo. Kale nno weeyolese Ggwe, Ayi Mukama, n’ekigambo Kyo eky'obusaasizi era n’ekyama ky’okubeerawo Kwo okutukuvu, olwo okusugumbya okutukuvu okw’okusaba kulyoke kujjuze emyoyo gyaffe -- essaala ejja okulinnya waggulu w’ebigambo n'ennukuta n’okusukka okumuumuunya kw’ennyingo z’ebigambo n’amaloboozi gaabyo -- olwo ebintu byonna biryoke bibulire mu butaliiwo mu maaso g'okubikkulirwa kw’ekitiibwa Kyo.

Mukama! Bano be baddu abakuumye era abanywerera mu Ndagaano Yo n’Eddaame Lyo, abeenywerezza ku luwuzi lw’obutasagaasagana mu Nzikiriza Yo, era ne beekwata ku ddinda ly’ekyambalo ky’ekitiibwa Kyo. Obabeere n’ekisa Kyo, Ayi Mukama, obakakase n’obuyinza Bwo era onyweze ebimyu byabwe mu kukugondera Ggwe.

Ggwe Asonyiwa, Oweekisa.

#6239
- `Abdu'l-Bahá

 

Ayi Mukama wange era Essuubi lyange! Oyambe abaagalwa Bo abanywevu mu Ndagaano Yo ey'amaanyi, babeere beesigwa eri Enzikiriza Yo eyoleseddwa, era basse mu nkola amateeka Ggwe ge wabalambikira mu Kitabo Kyo ekirimu Ebyamakula; bwebatyo balyoke bafuuke ebendera z’okuluŋŋamizibwa era ettabaaza y’Eggye ly’omu Ggulu waggulu, ensulo z'amagezi Go agataliiko kkomo, era emmunyeenye ezitulaga ekkubo ettuufu, nga bwe zaakaayakana okuva mu ggulu ettukuvu.

Ddaladdala, Ggwe Atawangulwa, Ayinza-byonna, Owaamaanyi-gonna.

#6240
- `Abdu'l-Bahá

 

OKUSONYIYIBWA

...Okwejusa ebibi n'ebyonono eri abantu, tekiki rizibwa... Omwonoonyi alina okuda eri Katonda we, olwo n'awanjagira ekisa, ky'Oyo, nnyini nnyanja ey'ekisa, n'asaba ekusonyiyibwa okuva mu Ggulu ly'obugobi bwe, ayatule nti:

Ayi Katonda wange, Ayi Katonda wange! Nkwegayirira kulw'omusaayi gw'abagalwa Bo, abesigwa, abo abasanyusibwa ennyo, ebigambo Byo, olwo ne beyunira ku ntiko y'ekitiibwa Kyo, mu kifo ky'obujulizi obusingira ddala ekitiibwa, era nkwegayirira kulw'ebyewunyo ebikwekeddwa mu magezi Go ag'omuwendo agali mu nnyanja ey'ekisa Kyo onsonyiwe ebyonoono byange, osonyiwe ne kitange wange ne mange. Mw'abo abalaga ekisa, Mu mazima Ggwe osingira ddala ekisa. Tewali Katonda mulala wabula Ggwe, Asonyiwa bulijjo, Asingira ddala ekisa.

Ayi Mukama! Ggwe olabira ddala omwonoonyi ono nga akyukidde eri ennyanja y'ekisa Kyo, era omunafu ono nga anoonya Obwakabaka bw'amaanyi g'obutukuvu Bwo, era omunkuseere ono nga anuuka okutunuulira omusana gw'obugagga Bwo. Kulw'ekisa Kyo n'omukisa Gwo, tomusubya mukisa Gwo Ayi Mukama, wadde okumugaana okutuuka ku kubikkulirwa kw'obulungi Bwo, mu lunaku Lwo, oba okumugoba ku mulyango Gwo, ogwo Ggwe gw'oggudde, eri abo ababeera mu Ggulu Lyo ne Kunsi Yo.

Woowe! Woowe! Ebibi byange bingaanye okutuuka mu mbuga ey'obutukuvu Bwo, era ebyonono byange bimbuziza ne ngenda wala okuva ku weema ey'obwakabaka Bwo. Nkoze ekyo Ggwe kye wangaana okukola, era, ne nteeka ku bbali, ekyo Ggwe kye wandagira okutuukiriza.

Nkusaba kulw'Oyo Mukama ow'Amannya gonna, ompandikire n'akafumo ak'omukisa Gwo, ekyo ekinanyamba okutuuka okumpi Nawe, era n'okunkokoolamu ebyonoono byange, ebyekiika wakati wange n'okusaalira Kwo n'okusonyiwa Kwo.

Ddala ddala, Ggwe oti wa maanyi, Omugabi. Tewali Katonda mulala wabula Ggwe, Ayinza byonna, ow'ekisa.

#6242
- Bahá'u'lláh

 

Ettendo libe gyoli Ayi Mukama! Otusonyiwe ebibi byaffe. Otukwatirwe ekisa, era otusobozese okudda gyoli. Tuyambe obutesigama ku mulala Yenna wabula Ggwe. Era otuyiweko, nga oyita mu mukisa Gwo, ekyo Ggwe kyoyagala era Ggwe kyosiima, ekyo kyennyini, ekikusaanira. Ogulumize ekifo kyabo abakukiririzaamu, era obasonyiwe kulw'ekisa eky'obusaasizi Bwo.

Ddala ddala, Ggwe Muyambi mukabi, Eyemalirira.

#6243
- The Báb

 

Ayi Katonda wange, Ayi Mukamawange! Nkusaba onsonyiwe olw'okunoonya essanyu eddala n'esinoonya kwagala Kwo. Ne noonya okubeera obulungi, ne nesubya okubeera okumpi Nawe, ne noonya essanyu eritali eryo Ggwe lyoyagala, ne noonya embeera endala mu kifo ky'okusembera gyoti.

#6244
- The Báb

 

Ayi Ggwe Mukama asonyiwa! Ggwe kiddukiro ky'abaddu Bo bano bonna. Ggwe omanyi ebyama era Ggwe otegeera byonna. Ffe tetwesobola, era Ggwe Owoobuyinza, Owaamaanyi-gonna. Ffenna tuli boonoonyi, era Ggwe Asonyiwa ebibi, Omusaasizi, Alumirirwa. Ayi Mukama! Oleme okutunuulira obunafu bwaffe. Ebyonoono byaffe bingi, naye ssemayanja w'okusonyiwa Kwo, teriiko kkomo. Obunafu bwaffe butuyinze, naye obubonero bw’okubeerwa Kwo n'obuyambi Bwo bweraga lwatu. Noolwekyo otukakase era otunyweze. Otusobozese okukola ebyo ebisaanidde Omufuubeeto Gwo omukutuvu. Omulise emitima gyaffe, otuwe amaaso agekkaanya n'amatu agawuliriza. Abafu obazze engulu n’abalwadde obawonye. Abaavu obawe obugagga n’abo abali mu kutya obawe emirembe n’obukuumi. Otukkirize mu bwakabaka Bwo era otumulisize n'ekitangaala eky'okuluŋŋamizibwa. Ggwe Owaamaanyi era Omuyinza wa byonna. Ggwe Omugabi. Ggwe Omusaasizi. Ggwe Oweekisa.

#6245
- `Abdu'l-Bahá

 

OKUTENDEREZA N'OKWEBAZA

Ettendo lyonna, Ayi Katonda wange, libe eri Ggwe Oyo Ensibuko y’ekitiibwa kyonna n’obuyinza, ey’obukulu n’okugulumizibwa, eyobwakabaka n’obufuzi, eyobutukuvu n’ekisa, eyentiisa n’amaanyi. Buli oyo yenna Ggwe gw’osiima Ggwe omusobozesa okusemberera Ssemayanja Asingira ddala Obunene, era buli oyo yenna Ggwe gw’oyagala Ggwe omuwa ekitiibwa ekyokumanya Erinnya Lyo Erisingira ddala okubeera ery’Eddanedda. Ku abo bonna abali mu ggulu ne ku nsi, teri n’omu asobola kuziyiza okussibwa mu nkola obufuzi bw’Okwagala Kwo. Okuva eddanedda lyonna Ggwe wafuganga obutonde bwonna, era emirembe gyonna Ggwe oliyongeranga okukozesa obuyinza Bwo ku bitonde byonna. Teri Katonda mulala okuggyako Ggwe, Ayinza-byonna, Asingira ddala Okugulumizibwa, Owaamaanyi-Gonna, Owaamagezi-Gonna.

Oyakaayakanye, Ayi Mukama, amaaso g’abaddu Bo, bwegatyo gasobole okukulaba Ggwe; era otukuze emitima gyabwe bwegityo gisobole okukyukira eri embuga y’emikisa Gyo emitukuvu, era gimanye Ye Oyo kwe Kwolesebwa Kwo Ggwe Mwene era Ensulo y’Ennono Yo. Ddaladdala, Ggwe Mukama w’ensi zonna. Teri Katonda okuggyako Ggwe, Atakugirwa, Awangula-byonna.

#6268
- Bahá'u'lláh

 

Ayi Katonda Alumirirwa! Weebazibwe Ggwe kubanga Ggwe onzuukusizza era n’onfuula omulabufu. Ompadde Ggwe eriiso eriraba, era n'ompa omukisa okutu kwange ne kuwulira; n’onkulembera okutuuka mu Bwakabaka Bwo era n’onnuŋŋamya mu kkubo Lyo. Ondaze Ggwe ekkubo ettuufu era n'onsobozesa okuyingira mu Kyombo ky'Okununulwa. Ayi Katonda! Onkuume nneme okusagaasagana era onnyweze mbeere omuvumu. Onkuume nneme okutuukibwako okugezesebwa okwamaanyi, era onkuume era ombubudamye mu bbugwe omugumu ennyo ow'Endagaano Yo n'Eddaame Lyo. Ggwe Owaamaanyi! Ggwe Liisoddene! Ggwe Awulira! Ayi Ggwe Katonda Alumirirwa!

Ompe omutima nga endabirwamu, oguyinza okwakaayakanyizibwa n'ekitangaala ky’okwagala Kwo, era ompe ebirowoozo ebiyinza okukyusa ensi eno n’efuuka nga ennimiro y'ebimuli bya looza nga oyita mu nsulo z’ekisa ekitukuvu.

Ggwe Alumirirwa, Omusaasizi, Ggwe Katonda Muzirakisa asinga.

#6269
- `Abdu'l-Bahá

 

OKUWAAYO MU NSAWO Y'ENZIKIRIZA

Abeemikwano gya Katonda bonna … basaana okuwaayo nga bwe basobola, ekiweebwawo kyabwe ne bwe kibeera kitono kitya. Katonda tabinika muntu yenna omugugu gw’atasobola kwetikka. Okuwaayo nga okwo kuteekwa okuva mu buli nkiiko zonna, n’abakkiriza bonna. … Abange Mmwe Mikwano gya Katonda! Mubeere bakakafu nti bwe munaawangayo, emirimu gyammwe egy’obulimi, n’obulunzi, amakolero gammwe, n’ebyobusuubuzi byammwe binaaweebwanga omukisa byeyongere okugaziwa, nga bivaamu ebirabo ebirungi n’emikisa. Oyo yenna ajja n’ekikolwa ekirungi anaafunanga ekirabo nga kyekubisizzaamu emirundi kkumi. Tewali kubuusabuusa nti Mukama omulamu anaakakasanga nnyo abo abakozesa obugagga bwabwe mu kkubo Lye.

#6246
- `Abdu'l-Bahá

 

Ayi Katonda, Katonda wange! Omulise ebyenyi by'abaagalwa Bo abamazima, era obabudeebude n’amagye ga bamalayika balyoke batuuke ku buwanguzi obwannamaddala. Nywereza ebigere byabwe mu kkubo Lyo eggolokofu, era okuva mu kirabo Kyo eky'eddanedda obaggulire enzigi ez'emikisa Gyo; kubanga bakozesa ekyo Ggwe ky’obawadde mu kkubo Lyo, nga bakuuma butiribiri Enzikiriza Yo, nga bassa obwesige bwabwe mu kukujjukiranga Ggwe, nga basaddaaka emmeeme zaabwe ku lw'okukwagala Ggwe, era n’obutakodowalira bye balina ku lw’okusuuta Obubalagavu Bwo era ne mu kunoonya kwabwe okw’amakubo ag’okukusanyusa Ggwe.

Ayi Mukama wange! Obagerekere omugabo omunene okuliyirirwa okwategekebwa era empeera ekakasiddwa.

Ddaladdala, Ggwe Muwanirizi, Omuyambi, Oweekisa, Omugabirizi, Lugaba-Oweemirembe gyonna.

#6247
- `Abdu'l-Bahá

 

OKUWONYEZEBWA

Erinnya Lyo kwe kuwonyezebwa kwange, Ayi Katonda wange, n’okujjukirwa Kwo bwe buweerero bwange. Okukuliraana Ggwe ly'essuubi lyange, era n'okukwagala Ggwe ye munywanyi wange. Okusaasira Kwo eri nze kwe kuwonyezebwa kwange, era okubeerwa kwange mu nsi eno n’eyo egenda okujja. Ddaladdala Ggwe Mugabirizi-wa-Byonna, Amanyi-Byonna, Owaamagezi-Gonna.

#6250
- Bahá'u'lláh

 

Ggwe Wuuyo, Ayi Katonda wange, mu mannya Go abalwadde mwe bayita okuwonyezebwa ne bawandwadde bassuuka, n’abayonta baweebwa ekyokunywa, n’abasobeddwa ennyo batebenkera, n’abawabye baluŋŋamizibwa, n’abanyoomebwa bagulumizibwa, n’abanaku bagaggawazibwa n’ababuyabuya batangaazibwa, n’abanyiikaavu baweebwa essanyu, n’abanakuwavu babudaabudibwa, n’abannyogoze bafuna ebbugumu, n’abanyigirizibwa basitulwa. Nga biyita mu linnya Lyo, Ayi Katonda wange, ebitonde byonna byagolokoka, n’ensi z’omu ggulu ne zanjulukuka, n’ensi yabangibwawo, n’ebire byekuluumulula ne bivaamu enkuba n’etonnya ku nsi.

Noolwekyo, nkwegayirira Ggwe, ku lw’erinnya Lyo Ggwe mwe wayoleseza Obwakatonda Bwo, era mwe wagulumiriza Enzikiriza Yo okusukkuluma ebitonde byonna, ne ku lwa buli kimu ku bitiibwa Byo ebisingira ddala obukulu wamu n’obubonero obusingira ddala ekitiibwa, era ne ku lw’empisa zonna eziraga Okubeerawo Kwo okusukkulumu era okusingira ddala okugulumizibwa mwe kutenderezebwa, otonnyese ekiro kino okuva mu bire eby’ekisa Kyo, ebire by’enkuba eby’okuvumula Kwo ku mwana ono ayonka, Ggwe gw’oyunze eri ekitiibwa Kyo kyonna Ggwe Mwene mu bwakabaka bw’obutonde Bwo. Kale nno, Ayi Katonda wange, omwambaze ku lw’ekisa Kyo, ekizibaawo ky’embeera ennungi n’obulamu obulungi, era omukuume, Ayi Omwagalwa wange, aleme okutuukibwako ebibonoobono byonna n’akacwano konna, era n’ebyo byonna Ggwe byotoyagala. Ddaladdala, amaanyi Go genkana ebintu byonna. Mu mazima, Ggwe Asingira ddala Amaanyi, Eyeemalirira. Ekirala, osse gy’ali, Ayi Katonda wange, ebirungi eby’ensi eno era n’eyo egenda okujja, era n’ebirungi eby’emirembe egyasooka n’egyo eginaddirira. Ddaladdala obuyinza Bwo n’amagezi Go byenkanakana na kino. Ddaladdala kano kabonero akekisa Kyo eri ebitonde Byo byonna.

#6251
- Bahá'u'lláh

 

Essaala ezaabikkulwa okusaba okuwonyezebwa zikozesebwa mu kusaba kw’okuvumulwa kw'omubiri, n'omwoyo. Bwotyo ziddemu olw'okuvumula omwoyo n’omubiri.

#6249
- `Abdu'l-Bahá

 

OKUYIGIRIZA

Erinnya Lyo litenderezebwe, Ayi Mukama Katonda wange! Ggwe ondaba engeri amaaso gange gye geekaliriza okwagala kw’ekisa Kyo, era n’engeri amaaso gange gye gakyukidde eri entikko y'ekisa Kyo, era n’ekisa ky'okwagala Kwo, era n’engeri emikono gyange gye gyegolodde eri eggulu ly’ebirabo Byo. Obuyinza Bwo bumpaako obujulirwa! Buli kitundu ku mubiri gwange kikukoowoola Ggwe nga kigamba nti, “Ayi Ggwe Oyo Omwagalwa-Ennyo ow’ensi zonna, era Mukama w’ebyo byonna ebiri mu ggulu ne ku nsi, era Oyo omu Okwegomba kw'emitima egyeweereddeyo ddala eri Ggwe! Nkwegayirira Ggwe, ku lwa Ssemayanja Wo kwe wakuŋŋaanyiriza abatuuze bonna ab’omu ggulu era n'abtuuze bonna ab’oku nsi, oyambe abaddu Bo ababadde balemesebwa okugikyukira era n'okusemberera embalama zaayo. Nate era, Ayi Katonda wange, obawe Envinnyo esingira ddala ey’okusaasira Kwo, olwo ebasobozese okwerabira omulala yenna wabula Ggwe, era n’okugolokoka baweereze Enzikiriza Yo, era n’okunywerera mu kwagala kwabwe eri Ggwe. Noolwekyo, Ayi Katonda wange, obayambe okwerekereza ebirala byonna okuggyako Ggwe, era obasobozese okwatulanga ettendo Lyo, n'okutendereza ebirungi Byo. Ddaladdala, Ggwe Mukama w'obulamu bwabwe era Ekiruubirirwa ky’okusuuta kwabwe. Singa olibagoba Ggwe, olwo ani alibatunulako; singa basuulibwa ewala okuva Ggwe w’Oli, ani aliwo ayinza okubayamba okusemberera Embuga Yo? Ndayira ku lw'obuyinza Bwo! Teri bubudamo obw’okuddukiramu okuggyako Ggwe, era teri buddukiro bwa kunoonya okuggyako obuddukiro Bwo, era teri bukuumi okuggyako obukuumi Bwo. Zimusanze oyo akkiririza mu Mukama nga mulala wabula Ggwe, era baweereddwa omukisa abo abeggye ku batuuze bonna ab’oku nsi Yo, era ne beekwata ku ggemo ly'obugabirizi Bwo. Be bano! Be bantu ba Bahá, abali mu maaso g’abo bonna abali mu ggulu n’abo abali ku nsi. Teri Katonda okuggyako Ggwe, Amanyi-byonna, Ategeera-byonna. Ettendo libe eri Katonda, Mukama ow'ensi zonna.

#6282
- Bahá'u'lláh

 

Ayi Katonda wange, oyambe Ggwe omuddu Wo okugulumiza Ekigambo, era n’okuwakanya eby’obutaliimu n’ebikyamu, okunyweza amazima, okubunyisa ennyiriri entukuvu wonna, okubikkula ebirungi, era n’okusobozesa ekitangaala eky’oku makya okulabikira mu mitima gy’abatuukirivu.

Ddaladdala, Ggwe Lugaba, Asonyiwa.

#6284
- `Abdu'l-Bahá

 

Ayi Katonda, Ayi Katonda! Kino ky’ekinyonyi ekirina ekiwaawaatiro ekimenyese era n'okubuuka kwakyo kwa kasoobo nnyo – omuyambe bwatyo asobole okubuuka atuuke ku ntikko y'obuwanguzi n'obulokozi, abuukire mu ssanyu, n'okwesiima okungi ennyo wonna mu bbanga eritakoma, olangirire oluyimba lwe mu Linnya Lyo Essukkulumu mu bitundu byonna, ocamule amatu n’okukoowoola kuno, era otukuze amaaso nga gatunuulira obubonero obw’okuluŋŋamizibwa. Ayi Mukama! Ndi bwa nnamunigina, obw’omu era omunaku. Nze sirina mubeezi wabula Ggwe, sirina muyambi okuggyako Ggwe era sirina muwanirizi okuggyako Ggwe.

Onkakase mu buweereza Bwo, ombeere n'amagye ga bamalayika Bo, onfuule omuwanguzi mu kubunyisa Ekigambo Kyo, era onsobozese okwatula ebyamagezi Go wakati mu bitonde Byo. Ddaladdala, Ggwe muyambi w'abanafu era alwanirira abaana abato, era ddaladdala Ggwe Owaamaanyi, Owoobuyinza era Atakugirwa!

#6283
- `Abdu'l-Bahá

 

Ayi Ggwe Katonda atageraageranyizibwa! Ayi Ggwe Mukama w'Obwakabaka! Abantu bano ly’eggye Lyo ettukuvu. Obayambe era, nga bali wamu n’ebibinja by’Eggye ly’omu Ggulu, obafuule abawanguzi, bwebatyo buli omu ku bo asobole okufuuka nga ekibinja ky’eggye era awangule amawanga gano nga ayita mu kwagala kwa Katonda era n'okutangaazibwa kw'enjigiriza entukuvu.

Ayi Katonda! Obeere omubeezi waabwe era omuyambi waabwe, era mu ddungu, ku lusozi, mu kikko, mu bibira, mu lukoola, ne mu nnyanja, obeere Ggwe omwesigwa waabwe – bwebatyo basobole okulangirira Ekigambo Kyo nga bayita mu maanyi g'Obwakabaka n’empewo y'Omwoyo Omutukuvu.

Ddaladdala, Ggwe Owaamaanyi, Owoobuyinza era Omuyinza-wa-byonna, era Owaamagezi, Awulira era Alaba.

#6285
- `Abdu'l-Bahá

 

Ayi Katonda, Katonda wange! Obabeere Ggwe abaddu Bo abeesigwa bafune emitima egyekisa. Obayambe okubunyisa, mu mawanga gonna ag'ensi, ekitangaala ky'okuluŋŋamizibwa ekiva mu Ggye ery’omu Ggulu. Ddaladdala, Ggwe Omugumu, Owoobuyinza, Owaamaanyi, Awangula-byonna, Omugabi-bulijjo. Ddaladdala Ggwe Lugaba, Omuteefu, Omukkakkamu, Omugabi Asingira ddala.

#6286
- `Abdu'l-Bahá

 

OKWEREKEREZA

Ayi Mukama! Gy’oli kye kiddukiro kyange, era eri obubonero Bwo bwonna omutima gwange gye ngutadde.

Ayi Mukama! Ombeere mu lugendo, oba nga ndi waka, era nga ndi ku mulimu gwange, oba mu buweereza bwange, nteeke obwesige bwange bwonna mu Ggwe.

Kale nno ompe obuyambi Bwo, obumala bwentyo nsobole okwerekereza ebintu ebirala byonna, Ayi Ggwe ategeraageranyizika olw’okusaasira Kwo!

Ongabire omugabo gwange, Ayi Mukama, nga Ggwe bw'oyagala, era onnyambe mbeere mumativu mu buli kyonna ky’olagidde ku lwange.

Ggwe alina wekka obuyinza obwenkomeredde obw’okulagira.

#6233
- The Báb

 

onda wange, Mukama wange era Antwala! Neerekerezza ab’eŋŋanda zange era ne nnoonya okwetongola okuva ku balala bonna abatuula ku nsi nga mpita mu Ggwe era nga bulijjo ndi mwetegefu okufuna ekyo ekitenderezebwa mu maaso Go. Ompe ekirungi nga ekyo ekinanfuula eyeetongodde ku balala bonna okuggyako Ggwe, era ompe omugabo ogusingako obunene mu birabo byo ebitaliiko kkomo. Ddaladdala, Ggwe Mukama oweekisa ekingi.

#6234
- The Báb

 

OLUGENDO

Ngolokose ku makya ga leero lwa kisa Kyo, Ayi Katonda wange, era nvudde mu maka gange nga neesigira ddala Ggwe, n’okweweerayo ddala eri obukuumi Bwo. Noolwekyo, osse ku nze omukisa Gwo okuva mu Ggulu ly’okusaasira Kwo, omukisa okuva mu kifo Kyo, era onsobozese okuddayo eka mu mirembe nga Ggwe bwe wansobozesezza okuvaayo mu bukuumi Bwo nga ebirowoozo byange mbinywerezza ku Ggwe.

Teri Katonda mulala yenna wabula Ggwe, Omu wekka, Atageraageranyizibwa, Amanyi-Byonna, Owaamagezi-Gonna.

#6253
- Bahá'u'lláh

 

Ayi Katonda, Katonda wange! Nvudde mu maka gange, nga neekwatidde ddala ku lukoba lw’okwagala Kwo, era neeweereddeyo ddala mu bulabirizi Bwo n’obukuumi Bwo. Nkwegayiridde Ggwe ku lw’obuyinza Bwo Ggwe bw’okozesa okutaasa abaagalwa Bo eri abaabula n'aboonoonefu, era n’eri buli mukozi w’ebibi abulidde ddala okuva eri Ggwe, okunkuuma obulungi ku lw'obugabi Bwo n'ekisa Kyo. Noolwekyo onsobozese okuddayo mu maka gange ku lw'amaanyi Go n'obuyinza Bwo. Mu mazima, Ggwe Ayinza-Byonna, Omuyambi mu Kabi, Eyeemalirira.

#6254
- Bahá'u'lláh

 

OLUKIIKO OLW'OMWOYO

Buli lwe muyingira awakuŋŋaanirwa mwatule essaala eno n’omutima ogutujja n'okwagala Kwa Katonda era n'olulimi olunaaziddwako byonna okuggyako okumujjukira Ye, bwatyo Oyo Owaamaanyi-Gonna asobole, ku lw’ekisa okubabeera mutuuke ku buwanguzi obw’oku ntikko.

Ayi Katonda, Katonda wange! Ffe tuli baddu Bo abakyuse n’okwewaayo eri Amaaso Go Amatukuvu mu Lunaku luno olw'ekitiibwa. Tukuŋŋaanidde mu Lukiiko olw’Omwoyo luno, nga tuli bumu mu ndowooza zaffe n’ebirowoozo byaffe, n'ebigendererwa byaffe nga bikwanaganyiziddwa olw’okugulumiza Ekigambo Kyo wakati mu bantu bonna. Ayi Mukama Katonda waffe! Otufuule obubonero bw' Okuluŋŋamizibwa Kwo Okutukuvu, Minzaani y' Enzikiriza Yo egulumizibwa wakati mu bantu, abaddu b’Endagaano Yo eyamaanyi. Ayi Ggwe Mukama waffe ali Waggulu Ennyo, ababaka ab’Obumu Bwo Obutukuvu mu Bwakabaka Bwo obwa Abhá, n’emunnyenye ezekitiibwa ezimulisa ebitundu byonna. Mukama! Otubeere tufuuke ennyanja ezibimba n'amayengo ag'Ekisa Kyo ekyewuunyisa, emyala egikulukuta okuva mu Nsozi engulumivu ezekitiibwa-kyonna, ebibala ebirungi ebiri ku Muti ogw’Enzikiriza Yo entukuvu, emiti egyewuubira mu mpewo z'Ekirabo Kyo mu Lusuku olutukuvu olw’Emizabbibu. Ayi Katonda! Okkirize emyoyo gyaffe okubeerawo nga gyesigamye ku Nnyiriri z'Obumu Bwo Obutukuvu, emitima gyaffe gigumizibwe n'ensulo ez’Ekisa Kyo, bwetutyo tusobole okwegatta nga amayengo ag'ennyanja emu, era tuyungibwe wamu nga omusana gw’Ekitangaala Kyo Ekyakaayakana; bwekityo ebirowoozo byaffe, endowooza zaffe, engeri gye twewuliramu, bisobole okufuuka nga eddoboozi limu, eryolesa omwoyo gw’obumu okwetooloola ensi yonna. Ggwe Oweekisa, Omugabirizi, Lugaba, Asinga-byonna, Omusaasizi, Alumirirwa.

#6275
- `Abdu'l-Bahá

 

Mukuŋŋaane wamu mu ssanyu erya nnamaddala, era ku ntandikwa y'olukuŋŋaana, mwatule mmwe essaala eno:

Ayi Ggwe Mukama ow'Obwakabaka! Newaakubadde emibiri gyaffe gikuŋŋaanye wamu wano, naye ate emitima gyaffe egitenguddwa giwaluddwa okwagala Kwo, naye ate era ne tusuumusibwa n’omusana oguva mu maaso Go agekitiibwa. Newaakubadde tuli banafu, tulindirira okubikkulirwa kw’amaanyi n'obuyinza Bwo. Newaakubadde tuli bankuseere, nga tetulina byamaguzi wadde ebyokukozesa, naye era twongera okufuna ebyobugagga okuva mu by’obugagga bw'Obwakabaka Bwo. Newaakubadde tuli matondo, naye era tweyongera okusena okuva mu buziba bwa ssemayanja Wo. Newaakubadde tuli bukyu, naye era tweyongera okwakaayakana mu kitiibwa ky’Enjuba Yo ennungi ennyo. Ayi Ggwe Omugabirizi waffe! Osse ku ffe obuyambi Bwo, olwo buli omu akuŋŋaanye wano asobole okufuuka omusubbaawa ogukoleezeddwa, buli omu afuuke entabiro y’okusikirizibwa, buli omu afuuke omulanzi eri obwakabaka Bwo obw'omu ggulu, olwo ku nkomerero tufuule ensi eno etatuukiridde ebeere nga ekifaananyi kyennyini eky'Olusuku Lwo Olutukuvu.

#6276
- `Abdu'l-Bahá

 

Essaala eddibwamu mu kuggalawo ensisinkano y’Olukiiko lw’Omwoyo.

Ayi Katonda! Ayi Katonda! Nga oyima mu bwakabaka bw'obumu Bwo otutunuulire ffe nga tukuŋŋaanye mu nsisinkano eno ey'omwoyo, nga tukkiririza mu Ggwe, nga tulina obwesige mu bubonero Bwo, nga tuli banywevu mu Ndagaano Yo n'Eddaame Lyo, nga tusikirizibwa eri Ggwe, nga tukoleezeddwa n'omuliro gw'okwagala Kwo era nga abeesimbu mu Nzikiriza Yo. Tuli baddu mu lusuku Lwo olw’emizabbibu, ababunyisa eddiini Yo, abakusinza Ggwe mu kwewaayo, abawombeefu era abaagalwa Bo, abawulize mu maaso g'oluggi Lwo, era abakwegayirira Ggwe okutukakasa mu kuweereza abalonde Bo, okutubeera n’amagye Go agatalabika, onyweze ebimyu mu buddu bwaffe eri Ggwe era n’okutufuula abawulize era abantu abasuute okusseekimu Naawe.

Ayi Katonda waffe! Tuli banafu, era Ggwe Owaamaanyi, Owoobuyinza. Tuli bafu, era Ggwe Mwoyo gwennyini ogwobulamu. Tuli banaku, era Ggwe Atubeezaawo, Owaamaanyi.

Ayi Mukama waffe! Okyuse amaaso gaffe eri obwenyi Bwo, obwookusaasira, otuliise n’ekisa Kyo ekingi okuva ku mmeeza entukuvu, otujune n’amagye ga bamalayika Bo ab’oku ntikko era otukakase nga oyita mu batukuvu bo ab'omu Bwakabaka bwa Abhá.

Ddaladala, Ggwe Mugabirizi, Omusaasizi. Ggwe Alina ebirabo ebikulu, era, ddaladdala, Ggwe Alumirirwa era Oweekisa.

#6277
- `Abdu'l-Bahá

 

Occasional

EMIKONO GY’ENZIKIRIZA YA KATONDA

" ...Abakuumi Abakulu aba Gavumenti ya Bahá’u’lláh emberyeberye mu nsi yonna, abaweereddwa Ekitebe ekyenkomeredde eky’Endagaano ye obuvanaanyizibwa obwannabansasaana obwokutebenkeza n’okubunyisa Enzikiriza ya Kitaawe.”

- Shoghi Effendi

Ekitangaala n'ekitiibwa, okulamusa n'ettendo bibeere ku Mikono gy’Enzikiriza Ye, nga mu Ye ekitangaala ky'obuvumu mwe kyakidde era n'amazima mwe gakakasiddwa nti obuyinza obw'okubalonda bwa Katonda, Owaamaanyi, Owoobuyinza, Atakugirwa, nga mu Ye ssemayanja w'ekisa abimbye era n'obuloosa bw’ekisa kyokusiima kwa Katonda, Mukama w’abantu bonna, bubunyisiddwa wonna. Tumwegayirira Ye – Oyo agulumizibwa – okubabikkako obusubi nga ayita mu maanyi g’amagye Ge, abakuume nga ayita mu maanyi g'obwakabaka Bwe era n’okubadduukirira nga ayita mu maanyi Ge agatalemererwa agabunye ebitonde byonna. Obwakabaka bwa Katonda, Omutonzi w'ensi z’omwoyo, era Mukama w'Obwakabaka obw'Amannya.

#6248
- Bahá'u'lláh

 

ESSAALA Z'ABAFU

Ekitiibwa kibe gyoli, Ayi MukamaKatonda wange! Tomufeebya oyo gwewa gulumiziza nga oyita mu maanyi ag'obwakabaka Bwo obutagwaawo, era tomusuula wata oyo gwewakirizza okuyingira eweema ey'obutaggwawo Bwo. Onoomusula muguluka, Ayi Katonda wange, oyo gw'osiikirizza n'obukama Bwo, era on'omugoba okuva Woli, oyo, Ayi Okwegomba kwange, nga Ggwe obaddeobubudamo bwe? Oyinza okumussa wansi oyo gw'oyimusizza oba okumwerabira oyo Gwewasobozesa okukujukira?

Oli wakitiibwa, Ggwe oli wakitiibwa ekiyitiridde! Ggwe okuva dda nedda, Ggwe Kabaka w'ebitonde byonna era Ggwe abiwa obulamu, era Ggwe emirembe n'emirembe, Ggwe olisigala nga Mukama ow'ebitonde byonna, era Ggwe abitonda. Oli wakitiibwa Ayi Mukama wange! Singa Ggwe otekeraawo okukwatirwa abaddu Bo ekisa, ani anabalaga ekisa, era singa tobayamba, ani anabayamba?

Oli wakitiibwa, Ggwe Oli wakitiibwa ekitayogerekeka! Ggwe eyegombebwa mu mazima Go, era Ggwetusinza ffena, era Ggwe alaga obwenkanya, era Ggwe tuwaako obujjulizi ffena. Ggwe mu mazima oyagalibwa olw'emikisa Gyo. Tewali Katonda mulala wabula Ggwe, Omuyambi mu kabi, Eyemalirira.

#6236
- Bahá'u'lláh

 

Essaala y’Abafu: Essaala eno erina okukozesebwa ku Babahá’í abasussa emyaka ekkumi neetaano. “Eno y’essaala ya Bahá’í yokka eyetteeka okuddibwamu abantu bonna awamu; eteekwa okuddibwamu omukkiriza omu nga abalala bonna bayimiridde mu kasirise… Tekyetaagisa kwolekeza bwanga e Qiblih essaala eno bw’ebeera nga eddibwamu.

- Byava mu Kitáb-i-Aqdas

Ayi Katonda wange! Ono ye muddu Wo era omwana w'omuddu Wo abadde akkiririza mu Ggwe ne mu bubonero Bwo, era amaaso ge n’agatunuza eri Ggwe, ne yeerekereza byonna wabula Ggwe. Ddaladdala, Ggwe oli omu ku abo aboolesa obusaasizi Omusaasizi Asinga.

Ayi Ggwe Asonyiwa ebyonoono by'abantu era Akweka ensobi zaabwe, Omulamule nga bwe kisaanira eggulu ly'ebirabo Byo, era ne ssemayanja w’ekisa Kyo. Omukkirize okuyingira mu bifo by’okusaasira Kwo okutukuvu ebyaliwo nga omusingi gw'ensi n’eggulu tegunnabaawo. Teri Katonda wabula Ggwe, Asonyiwa-olubeerera, Omugabi-Asinga.

Oluvannyuma asaana addemu emirundi mukaaga okulamusa kuno nti “Alláh-u-Abhá”, ate era addemu emirundi kkumi na mwenda buli lumu ku nnyiriri zino:

Alláh-u-Abhá ( x1)

Ddaladdala, ffenna tusinza Katonda.(x19)

Alláh-u-Abhá ( x1)

Ddaladdala, ffenna tuvunnamira Katonda. ( x19)

Alláh-u-Abhá ( x1)

Ddaladdala, ffenna twewaayo eri Katonda. (x19)

Alláh-u-Abhá ( x1)

Ddaladdala, ffenna tutendereza Katonda. (x19)

Alláh-u-Abhá ( x1)

Ddaladdala, ffenna twebaza Katonda. ( x19)

Alláh-u-Abhá ( x1)

Ddaladdala, ffenna tuli bagumiikiriza mu Katonda. ( x19)

(Singa omufu abeera mukazi, asaana agambe nti: Ono muzaana Wo era muwala w'omuzaana Wo, …)

#6235
- Bahá'u'lláh

 

Ayi Katonda wange! Ayi Ggwe Omusonyiyi w'ebyonoono, Omugabi w'ebirabo, Ajjawo okunyolwa!

Ddala ddala nkwegayiridde osonyiwe ebyonono byabo abavudde mu kyambalo kino ekyomubiri, nebagya munsi y'emwoyo.

Ayi Mukama wange! Banaazeeko ebyonoono byabwe, omalewo okunyolwa kwabwe, era ekizikiza kyabwe okifuule omusana. Obayambe okuyingira mu lusuku lw'essanyu Lyo, obatukuze n'amazziamatukuvu era obakirize okulaba ku kumasamasa kw'obulungi Bwo, ku lusozi Lwo, olusingira ddala obugulumivu.

#6237
- `Abdu'l-Bahá

 

Tablets