Return to BahaiPrayers.net
Facebook
Eddibwamu omulundi gumu mu ssaawa abiri mu nnya.
Oyo yenna ayagala okuddamu essaala eno, asaana ayimirire era akyukire Katonda, era, nga ayimiridde mu kifo kye, asaana atunule ku ddyo ne ku kkono, nga alinga alindirira okusaasirwa Mukamaawe, Asinga okusaasira n’ekisa. Oluvannyuma agambe nti:
Ayi Mukama Ggwe ow'amannya gonna era Omutonzi w'ensi zonna! Nkwegayirira Ggwe mu Abo Enjuba ez’Okubikkulirwa Kwo okw’Ennono Yo etalabika, Omusuutwa Asingira-ddala, Oweekitiibwa-Kyonna, okufuula essaala yange omuliro ogunaasaanyaawo entimbe ezinziyiza okulaba obubalagavu Bwo, era nga ekitangaala ekinankulembera okutuuka ku ssemayanja w’Okubeerawo Kwo.
Kati agolole emikono gye mu kwegayirira Katonda – agulumizibwe omutukuvu Oyo -- era ayatule nti:
Ayi Ggwe Eyegombebwa ensi yonna era Omwagalwa w'amawanga! Ondaba nga nkyukidde eri Ggwe, era nga ndese ebirala byonna okuggyako Ggwe, era nga nneekutte ku munagiro Gwo, nga bwe guseetuka obutonde bwonna butabanguka. Nze ndi muddu Wo, Ayi Mukama wange, era mutabani w’omuddu Wo. Laba nze nyimiridde nga mmaliridde okukola ebyo Ggwe by'oyagala era n’ebyo Ggwe by'osiima, era nga sirina kirala kye njagala okuggyako ekyo ekikusanyusa Ggwe. Nkwegayirira Ggwe kulwokusaasira Kwo okujjuza Ssemayanja era ne ku lw’ekisa Kyo ekyaka ng’Emmunyeenye Eyemisana ey’ekisa Kyo okukola omuddu Wo nga Ggwe bw'oyagala era nga bw’osiima. Olwamaanyi Go agatenkanika! Buli ekyo kyonna ekibikkuliddwa Ggwe kwe kwegomba kw'omutima gwange era emmeeme yange kyeyagala. Ayi Katonda, Katonda wange! Obutatunuulira ssuubi newaakubadde ebikolwa byange, wabula okutunuulira ekyo Ggwe ky’oyagala ekibuutikidde eggulu n'ensi. Ndayira mu Linnya Lyo Erisinga-gonna, Ayi Mukama Ggwe ow'amawanga gonna! Okuyaayaana kwange kuli ku ebyo byokka Ggwe by’osiima n’okwagala kwange ku ebyo by’oyagala.
Kati asaana afukamire, era nga avuunise ekyenyi kye wansi, asaana agambe nti:
Ogulumizibwe Ggwe okusinga okunnyonnyola kw’omuntu yenna wabula Ggwe Mwene, era n’okutegeera kw’omulala yenna wabula Ggwe.
Olwo asaana ayimirire era agambe nti:
Ofuule essaala yange, Ayi Mukama wange, ensulo y'amazzi ag'obulamu mwe nnaabeeranga okumala ebbanga lyonna obwakabaka Bwo lye buliwangaala, era ne nsobola okwatulanga Ggwe mu buli nsi eri mu nsi Zo zonna.
Kati asaana agolole emikono gye nate mu kwegayirira kwe, era agambe nti:
Ayi Ggwe asaanuula emitima n’emmeeme ebikwesudde, era nnyini muliro gw’okwagala ogubengeya mu nsi yonna ekoledde oluyiira! Nkwegayirira Ggwe ku lw'Erinnya Lyo omuyitibwa okujeemulula obutonde bwonna, oleme kunnyima ekyo Ggwe ky’olina, Ayi Ggwe afuga abantu bonna! Ggwe olaba, Ayi Mukama wange, omugwira ono nga yeeyuna okutuuka mu maka agasinga okugulumizibwa wansi wa weema y’ekitiibwa Kyo era munda mu bifo by’okusaasira Kwo; era omwonoonyi ono anoonya ssemayanja w'okusonyiwa Kwo; era omuwombeefu ono anoonya embuga y’ekitiibwa Kyo; era ekitonde kino ekinaku kinooya ensibuko y’obugagga Bwo. Obuyinza bubwo Ggwe okulagira nga Ggwe bw’oyagala. Njulira nti Ggwe oteekwa okutenderezebwa olw’ebyo Ggwe by’okola, era n’okugonderwa mu biragiro Byo, era n'obutakugirwa Bwo obw’olubeerera mu ebyo Ggwe by’olagira.
Kati olwo ayimuse emikono gye, era addemu emirundi essatu Erinnya Erisingira ddala gonna (Alláh-u- Abhá). Nga amaze, ate olwo akutame nga emikono gye agitadde ku maviivi mu maaso ga Katonda – agulumizibwe omutukuvu Oyo – era agambe nti:
Ggwe olaba, Ayi Katonda wange, emeeme yange nga bw’etundugga munda mu mubiri gwange, mu kuyaayaana kwayo okukusinza, era ne mu kwoya okukujjukira era n’okukusuuta Ggwe nga bw’ekakasa ebyo Olulimi lw’Etteeka Lyo bye luwaddeko obujulizi mu bwakabaka bw'Ekigambo Kyo, era n’eggulu ly'amagezi Go. Njagala, mu mbeera eno, Ayi Mukama wange, okukwegayirira ebyo byonna ebiri eri Ggwe, nsobole okwolesa obunaku bwange, era nkungirize obugabi Bwo n'obuggaga Bwo, era nsobole okulangirira obunafu bwange, era njolese amaanyi Go n'obuyinza Bwo.
Olwo ayimirire, ayimuse emikono gye emirundi ebiri waggulu nga awanjagira omutonzi we ayatule nti:
Tewali Katonda mulala wabula Ggwe, Ayinza-byonna, Omugabi wa byonna. Tewali Katonda mulala okuggyako Ggwe, Omulamuzi, okuva mu lubereberye ne mu nkomerero. Ayi Katonda, Katonda wange! Okusonyiwa Kwo kumpadde amaanyi, era n'okusaasira Kwo kumpadde obuvumu, era n’okukowoola Kwo kumpawamudde, era n'ekisa Kyo kinnyimusizza ne kinkulembera okutuuka eri Ggwe. Kale nze ani eyandyetantadde okuyimirira ku wankaaki w'ekibuga ky’okubeerawo Kwo, oba okutunuza obwanga bwange okwolekera ekitangaala ekyaka okuva mu ggulu ly'okwagala Kwo? Ggwe olaba, Ayi Mukama wange, ekitonde kino ekijjudde ennaku nga kikonkona ku luggi lw’ekisa Kyo, era n’omwoyo guno ogw’akaseera obuseera nga gunoonya omugga gw’obulamu obutaggwaawo okuva mu mikono gy’obugabirizi Bwo. Eriryo ly’etteeka ebiseera byonna, Ayi Ggwe Oyo Mukama w'amannya gonna, era nze kye nina okukola kwe kukkiririza ddala era n'okweweerayo ddala eri ekyo Ggwe ky’oyagala, Ayi Ggwe Omutonzi w'ensi zonna!
Kati olwo awanike emikono gye emirundi esatu, era agambe nti:
Katonda Mukulu okusinga omulala yenna!
Kati olwo n’alyoka afukamira era, nga akutamizza omutwe gwe wansi, agamba nti:
Ggwe oli waggulu nnyo w’ettendo ly’abo abali okumpi Naawe ne litasobola kulinnya okutuuka okumpi n’ekitiibwa Kyo, oba ebinyonyi by’emmeeme z’abo abeeweerayo ddala eri Ggwe okutuuka ku luggi lwa wankaaki Wo. Njulira nti Ggwe otukuzibwa okusinga obubonero bwonna era Ggwe oli mutukuvu okusinga amannya gonna. Teri Katonda wabula Ggwe, Asuutibwa Okusinga byonna, Oweekitiibwa-kyonna.
Kati ate n’atuula era n’agamba nti:
Njulira ku ekyo obutonde bwonna bwe kiwaddeko obujulizi, era n’Eggye ly’Abatuukirivu eyo waggulu, era n’abatuuze ab’omu Lusuku Olutukuvu oluli waggulu ennyo, ate okusukka ku abo, Olulimi lw’Ekitiibwa kyennyini nga luva mu Bwengula bw’ekitiibwa kyonna, nti Ggwe Katonda, teri Katonda wabula Ggwe, era nti n’Oyo ayoleseddwa kye Kyama Ekikusike, Akabonero Akoomuwendo, nga mu kuyita mu Ye ennukuta B-E-E-R-A (beera) mwe zaayungibwa era n'ezirukibwa wamu. Njulira nti Oyo Ye nnyini linnya eriwandiikiddwa n’Akafumu k'Oyo Ali Waggulu ennyo, era Ye nga y’ayogerwako mu Bitabo bya Katonda, Mukama owa Nnamulondo ey'omu ggulu, ne ku nsi.
Kati olwo n’alyoka ayimirira butengerera era n’agamba nti:
Ayi Mukama owoobulamu bwonna era Nnyini bintu byonna ebirabika n’ebitalabika! Ggwe olaba amaziga gange era n'ebikkoowe ebinvaamu, era awulira okusinda kwange, era n'okwaziirana kwange, era n'okudaagana kw’omutima gwange. Ndayira ku lw’obuyinza Bwo! Ebyonoono byange binkuumidde wala ne nnemwa okusembera okumpi Naawe; era ebibi byange binkuumira wala w’embuga y’obutuukirivu Bwo. Okwagala Kwo, Ayi Mukama wange, kungaggawazza, era okwawukana ku Ggwe kunsaanyizzaawo, era okubeera ewala Naawe kunsenkenyezza. Nkwegayirira Ggwe ku lw’enswagiro Zo mu ddungu lino, era ne ku lw'ebigambo; "Nze nzuuno, Nze Nzuuno." Abalonde Bo bye boogedde mu bwaguuga buno obw’ensi, era ku lw'omukka gw’obulamu ogw'Okubikkulirwa Kwo, n'empewo empeweevu z’oku Maliiri g’Okwolesebwa Kwo, olagire nti nsobola okwekaliriza obubalagavu Bwo, n’okugondera ebyo byonna ebiri mu Kitabo Kyo.
Kati olwo alyoke addemu emirundi esatu Erinnya Erisingira ddala gonna (Alláh-u- Abhá), era akutame nga atadde ebibatu bye ku maviivi, era agambe nti:
Ettendo libe eri Ggwe, Ayi Katonda wange, kubanga ombedde okukujjukira Ggwe era n'okukutendereza Ggwe, era n’ondaga Oyo Enjuba y’Okubikkulirwa kw’obubonero Bwo, era ansobozesezza okwetoowaza mu maaso g'Obukama Bwo, era ne nneewoombeeka mu maaso g’Obwakatonda Bwo, era n’okukkiriza ekyo ekyogeddwa Olulimi olw'ekitiibwa Kyo.
Kati alyoke ayimuke era agambe nti:
Ayi Katonda, Katonda wange! Omugongo gwange gwewese olw’omugugu gw'ebibi byange, era obulagajjavu bwange bunsaanyizzaawo. Buli lwe ndowooza ku bikolwa byange ebibi era n’okusaasira Kwo, emmeeme yange esaanuukira mu nze, era n'omusaayi gwange gutokotera mu misuwa gyange. Ndayira ku lw’Obubalagavu Bwo, Ayi Ggwe Eyeegombebwa Ensi yonna! Nkwatibwa ensonyi okuyimusa amaaso gange eri Ggwe, era emikono gyange egiyaayaana giswala okwegololera eri eggulu ly’obugabirizi Bwo. Ggwe olaba, Ayi Katonda wange, engeri amaziga gange gye ganziyiza okukujjukira Ggwe era n'okutendereza empisa Zo. Ayi Ggwe Mukama wa Nnamulondo eri waggulu ennyo era n’eya wansi ku nsi! Nkwegayirira Ggwe ku lw'obubonero bw'obwakabaka Bwo era n'ebyekusifu eby'Ettwale Lyo okukola eri abaagalwa Bo nga ekisa Kyo bwe kisaana, Ayi Mukama ow’obulamu bwonna, era nga bwe kisaanidde okusaasira Kwo, Ayi Kabaka w'ebirabika n'ebitalabika.
Kati addemu nga ayatula Erinnya Erisingira ddala Obukulu (Alláh-u-Abhá) emirundi esatu, afukamire nga atadde ekyenyi kye wansi, era agambe nti:
Ettendo libe eri Ggwe, Ayi Katonda waffe, kubanga Ggwe ossizza gye tuli ekyo ekitusembeza okumpi n’eri Ggwe, era atuwa buli kirungi kyonna Ggwe ky’ossizza wansi mu Bitabo ne mu Biwandiiko Byo. Otukuume, tukwegayirira Ggwe, Ayi Mukama wange, tuleme okuwambibwa amagye g’okwegomba okw’obutaliimu n’ebirowoozo ebyamalala. Mu mazima, Ggwe Owaamaanyi, Amanyi-byonna.
Kati ayimuse omutwe gwe, era atuule wansi, era agambe nti:
Njulira, Ayi Katonda wange, eri ekyo Abalonde Bo kye bawaddeko obujulirwa, era okukkiriza ekyo abatuuse mu Lusuku olw’oku ntikko era n’abo abeetoolodde Nnamulondo Yo eyobuyinza kye bakkirizza. Obwakabaka bw'ensi n’obwo obw’eggulu bubwo Ggwe, Ayi Mukama ow’ensi zonna!
- Bahá'u'lláh