Return to BahaiPrayers.net
Facebook
Otenderezebwe Ggwe, Ayi Mukama Katonda wange! Ku lw'ekisa Kyo okkirize omuwere ono ayonsebwe okuva ku bbeere ly’okusaasira Kwo okuboolerevu era akuzibwe nga aliisibwa n’ekibala ky'emiti Gyo egy’omu ggulu. Tomuganya kwewaayo akuumibwe omulala yenna wabula Ggwe, kubanga ddala Ggwe, Mwene, mu buyinza bw’okwagala Kwo okw’obwannamunigina wamutonda era n’okumuwa obulamu. Tewali Katonda mulala wabula Ggwe, Ayinza-byonna, Amanyi-byonna.
Oweebwe Ekitiibwa, Ayi Muganzi wange; omufuuweko obuwoowo obulungi obw'ekisa Kyo ekitenkanika, era n'obuloosa bw’ebirabo byo ebitukuvu. Bwotyo omusobozese okunoonya obubudamo wansi w'ekisiikirize ky'Erinnya Lyo Erisinga Okugulumizibwa, Ayi Ggwe awaniridde mu ngalo Zo obwakabaka bw’amannya n’obubonero. Ddaladdala, Ggwe olina obuyinza okukola ekyo Ggwe ky’oyagala, era mu mazima, Ggwe Owoobuyinza, Agulumizibwa, Asonyiwa-ennaku zonna, Oweekisa, Omugabi, Omusaasizi.
- Bahá'u'lláh