Return to BahaiPrayers.net
Facebook
Erinnya Lyo litenderezebwe, Ayi Mukama Katonda wange! Ggwe ondaba engeri amaaso gange gye geekaliriza okwagala kw’ekisa Kyo, era n’engeri amaaso gange gye gakyukidde eri entikko y'ekisa Kyo, era n’ekisa ky'okwagala Kwo, era n’engeri emikono gyange gye gyegolodde eri eggulu ly’ebirabo Byo. Obuyinza Bwo bumpaako obujulirwa! Buli kitundu ku mubiri gwange kikukoowoola Ggwe nga kigamba nti, “Ayi Ggwe Oyo Omwagalwa-Ennyo ow’ensi zonna, era Mukama w’ebyo byonna ebiri mu ggulu ne ku nsi, era Oyo omu Okwegomba kw'emitima egyeweereddeyo ddala eri Ggwe! Nkwegayirira Ggwe, ku lwa Ssemayanja Wo kwe wakuŋŋaanyiriza abatuuze bonna ab’omu ggulu era n'abtuuze bonna ab’oku nsi, oyambe abaddu Bo ababadde balemesebwa okugikyukira era n'okusemberera embalama zaayo. Nate era, Ayi Katonda wange, obawe Envinnyo esingira ddala ey’okusaasira Kwo, olwo ebasobozese okwerabira omulala yenna wabula Ggwe, era n’okugolokoka baweereze Enzikiriza Yo, era n’okunywerera mu kwagala kwabwe eri Ggwe. Noolwekyo, Ayi Katonda wange, obayambe okwerekereza ebirala byonna okuggyako Ggwe, era obasobozese okwatulanga ettendo Lyo, n'okutendereza ebirungi Byo. Ddaladdala, Ggwe Mukama w'obulamu bwabwe era Ekiruubirirwa ky’okusuuta kwabwe. Singa olibagoba Ggwe, olwo ani alibatunulako; singa basuulibwa ewala okuva Ggwe w’Oli, ani aliwo ayinza okubayamba okusemberera Embuga Yo? Ndayira ku lw'obuyinza Bwo! Teri bubudamo obw’okuddukiramu okuggyako Ggwe, era teri buddukiro bwa kunoonya okuggyako obuddukiro Bwo, era teri bukuumi okuggyako obukuumi Bwo. Zimusanze oyo akkiririza mu Mukama nga mulala wabula Ggwe, era baweereddwa omukisa abo abeggye ku batuuze bonna ab’oku nsi Yo, era ne beekwata ku ggemo ly'obugabirizi Bwo. Be bano! Be bantu ba Bahá, abali mu maaso g’abo bonna abali mu ggulu n’abo abali ku nsi. Teri Katonda okuggyako Ggwe, Amanyi-byonna, Ategeera-byonna. Ettendo libe eri Katonda, Mukama ow'ensi zonna.
- Bahá'u'lláh